Bakansala batongozza amazzi ag’ebbeeyi entono

Bakansala b’e Kira abakulembeddwaamu Emmanuel Okecho wamu n’aba Division abakulembeddwaamu Eria Sserwakulya, basakidde ekyalo kya Kazinga Main ekikulemberwa ssentebe Henry Kabanda  amazzi amayonjo agali ku bbeeyi entono.

omumyuka wa meeya e Kira Rashidah Nanyonga ng'atongoza amazzi ag'ebbeeyi entono e Kazinga, bakansala ba division ne munisipaali n'ebitongole ky'amazzi.
By Madinah Nalwanga
Journalists @New Vision
#bakansala #batongozza #amazzi

Bya Madinah Nalwanga

Bakansala b’e Kira abakulembeddwaamu Emmanuel Okecho wamu n’aba Division abakulembeddwaamu Eria Sserwakulya, basakidde ekyalo kya Kazinga Main ekikulemberwa ssentebe Henry Kabanda  amazzi amayonjo agali ku bbeeyi entono.

Amazzi gano gavudde mu kitongole kya National Water and Sewerage Cooperation  ne gatongozebwa omumyuka wa meeya wa Kira munisipaali, Rashidah Nanyonga wamu ne sipiika w’e Bweyogerere Division Asuman Mulinda.

Bano batongozza ttaapu ssatu mu bitundu bya Kazinga Main eby’enjawulo  ne basaba wabeerewo empuliziganya wakati w’abekitongole ky’amazzi n’abakulembeze b’ebitundu, basobole okubaloopera ebizibu ebikwata ku mazzi mu bitundu eby’enjawulo.

Lutwama, maneja w’amazzi ku ttabi ly’e Seeta wamu ne Sarah Asiimwe ow’ettabi ly’e Namanve  bagambye nti ebidomola 2 bya nnusu 100/-, era bakuutidde abantu abawaddeyo ebifo webateese amazzi obutagongeza bbeeyi, okusobola okuyamba omuntu wa wansi.

Balabudde ku bupapula kwe batambuliza yuniti z’amazzi nti bagenda kutandika okubuyisa ku ssimu okwewala emivuyo, n’abo abagamba nti tezibatuukako  okusobola okutereeza empeereza yaabwe, era n’asaba abalina akawunta z’amazzi okubawa essimu entuufu.

Bakansala b’e Bweyogerere okuli; Mastula  Zawedde , Nabirah Namuyigga, Ben Nyondo  ne Irene Zawedde Ssanyu  , basiimye ab’ekitongole kino olw’okubalowoozaako ennyo era ne basaba n’ebyalo ebirala mu Bweyogerere , nga Ntebettebe , babadduukirire kubanga balina obuzibu bw’amazzi, ate abagatunda bbeeyi eri waggulu.

Ate bakansala ba munisipaali okubadde minisita w’ebyobulamu; Rose Nakafeero Ssukka , Steven Namungo wamu ne Solomon Wannume , basiimye ab’ekitongole kino okubalowoozaako mu kiseera kino eky’akanyoolagano mu byenfuna.

Bano balaze okusoomoozebwa kwe bayitamu mu kiseera kino okw’oluzzi lw’ekyalo Kazinga  lwe baasaka okuva mu b’ekitongole kya  Hongmen Uganda olwatongozebwa gye buvuddeko ate okulaba nga banakigwanyizi batandise okusima emisingi okuluzibirayo.