BAKANSALA b'e Nakawa beemulugunyizza ku ntalo n’enjawukana ezisusse mu kanso ze bagamba nti ziviirako abamu ku bannaabwe okutiisibwatiisibwa wamu n’ebimu ku biteeso ebyakkiriziganyizibwangako mu bukiiko obutatuuka mu kanso kwanjulwa.
Bano nga bakulembeddwaamu Kansala w’abavubuka mu Nakawa, Sulaiman Jooga basinzidde mu lukung'aana lw’abaamawulire olwatuuziddwa ku Silver Springs e Bugolobi ne balaga obutali bumativu olw’ebiteeso ebyakkaanyiibwangako mu bukiiko kyokka nga baagendanga okutuuka mu kanso nga bino tebabirabako ku ebyo ebirina okukubaganyizibwako ebirowoozo nga kino kizing'amizza enzirukanya y’emirimu.
Ategezezza nga bwe buli obuvunaanyizibwa bw’obukiiko okulondoola ku mirimu egy’enjawulo egirina okukolebwa nga singa bulemesebwa kitegeeza nti emirimu tegisobola kutambula bulungi.
Sulaiman Jooga ng'ayogera
Jooga ategeezezza nga abamu ku bakansala bwe baalina obuvunaanyizibwa obw’enjawulo obw'okutuukiriza naye olw’entalo ezijjudde mu kanso kyabaviirako okulekawo obuvunaanyizibwa bwabwe olwo ebifo ne bisigala nga bikalu ekizing'amya obuweereza.
Anokoddeyo Kansala Dorah Solome Nakagga, kansala omukyala ow’abavubuka mu Nakawa era nga ye yaloondebwa ku bwassentebe bw’akakiiko akavunaanyizibwa ku bakozi n’enzirukanya y’emirimu (Administration and Human Resource) bw’amwogeddeko ng'entalo zino bwe zaamulemesa okutuukiriza emirimu gye n’asuulawo ekifo nga n’ebimu ku bintu ebyayisibwanga nga birina okuteesebwako mu kanso bikolebwe tebyatuusibwangayo.
Jooga ategezezza nga obukiiko bwonna obulondebwa bwe buyisibwa mu lutuula lwa kanso nga bonna balaba nga tewali nsonga yonna lwaki ate badda mu kuleetawo entalo ezizinngamya emirimu.
Asabye abakulembeze bonna abali mu bifo byabwe bulijjo okufaayo okutuukiriza obuvunanyizibwa bwabwe bakomye n’okulondola ebyo ebitali byabwe.
Fahad Bahat Kansala wa Itec ategeezezza ng'entalo ezisusse bwe zireetedde n’ekitiibwa kya Kanso okuggwawo nga buli ssaawa babeera mu kwerumaruma ekisiiga ekifaananyi ekibi eri abantu kyokka nga ssemateeka akirambika nti abakulembeze balina kuweereza bantu.
Nakagga.
Ategeezezza ng'entalo zino bwe zirimu omululu nga abakulembeze basaana buli omu amanyizibwe obuvunaanyizibwa bwe.
Bahat agamba nti ebisinga bwe bikolebwa mu butali bulambulukufu nga kyaviirako n’abamu ku bannabwe okutiisibwatiisibwanga.
Ategezezza nga ebiteeso ebisinga obungi bwe byateesebwanga era ne bikkaanyizibwako kyokka nga bino oluusi tebyayanjulwanga mu kanso kubiyisa olwo ne bibulira mu bbanga.
Bahat ategeezezza nga bwe yaloopako ng'alaga obutali bumativu mu nzirukanya y’emirimu mu kanso kyokka byonna nga tewali kuyambibwa.
Asabye abavunaanyiibwa ku nkola y’ebintu bulijjo okufuba okulaba nti ebintu byonna bikolebwa nga bwe birina okukolebwa.