BBAKKANSALA b’eggombolola y’e Nansana mu munisipaali y’e Nansana bavudde mu mbeera omu n’awamba omuggo gwa sipiika ng’etabwe eva ku nsimbi z’embalirira kubeeramu mivuyo.
Kkanso y'eggombolola ya Nansana yattudde okusobola okukubaganya ebirowoozo ku nsonga ezitali zimu nga eyabadde enkulu ye state of the division address mw’eri eyasomwa ssentebe wa diviizoni era mmeeya, Joseph Matovu.
Bakkansala Nga Baweereza Ebisongovu Mu Kkanso.
Olutuula luno yasoose kulwepena n’ajja kikeerezi kw’ossa n’omumyuka we. Bakkansala beemulugunyizza ku nsimbi ezaasomwa mmeeya Matovu ezitakwatagana n’ebyo ebyabaweebwa Town clerk Rosette Namiiro oluvannyuma lw'okwemulugunya.
Kansala Ismail Saava Kajubi yavuddeyo n’ateematema ensimbi ezaasolozebwa okuva mu misolo wamu n’ezo ezaabaweebwa gavumenti ya wakati nga w’ozigeraageranya n’ezo eziri mu state of the division address era nga basobola okufuna ebitundu 94 ku buli 100 wabula nga bwe yagase nga ensimbi ziyitamu mw’ezo ezaali zateekebwa mu mbalirira nga ziri ebitundu 120 ku buli 100 ekitegeeza nti ensimbi ezisoba mu bukadde 100 ze zitamanyidwako mayitire.
Mmeeya Joseph Matovu Ng'ayogerako Eri Bbakansla Mu Kkanso.
Kino kiwalirizza Sipiika Experito Muteesaasira okuyimirizaamu kkanso akulira ebyensimbi Barungi Diana ne Town clerk Namiiro Roset batereeze empapula zaabwe ez’ebyensimbi.
Kino kyaggye bakkansala mu mbeera era kkansala Rogers Galiwango yabuuse mu ntebe n’awamba omuggo gwa sipiika n’agezaako okukuulita nagwo wabula n’alemesebwa abaserikale abakuuma kkanso eno era n’oluvannyuma n’afulumuzibwa.
Kkansala ono yagobeddwa mu kkanso era n’aweebwa ekibonerezo kya butaddamu kutuula mu kkanso eziddako 2 olw’enneeyisa gye yeeyisizzaamu.
Oluvannyuma sipiika yagenze mu maaso n'ekanso wabula n’asaba Mmeeya Matovu asooke yeetondere kkanso olw’ekiwandiiko 2023/2024 kye yasomera kkanso nga mulimu ensobi ku miwendo gy'assente wabula ye ekintu kye yagaanye.
Bakkansala abatakkiriziganyizza na nsonga ya Mmeeya Matovu kwetonda baalabiddwako nga basaakaanyiza waggulu wabula nga waliwo n'abalala abakalambidde asooke kwetonda kkanso egende mu maaso.
Wano bakkansla baasazeewo Tawuni Clerk w’eggombolola Rosette Namiiro n'akulira ebyensimbi Diana Birungi bayimirizibwe ku mirimu gyabwe banoonyerezebweko ku ngeri gye bakozesaamu ensimbi y'omuwi w’omusolo era bakkansala ne bakisemba.
Oluvanyuma kkanso yagenze mu maaso n'okuteesa wakati mu bunkenke nga bakuumibwa Poliisi olw’obutaleetawo buvuuyo nga obuzze bubeerawo mu kkanso endala.