Akulira KCCA asaasidde abaakosebwa enkuba

AKULIRA ekitongole kya KCCA,Hajjati Sharifah Buzeki, akungubagidde abantu abaafiiriddwa abantu baabwe n’emmaali mu mataba agaatataaganyizza Bannakampala kyokka n’asaba abakulembeze abalonde mu kibuga Kampala okukomya Entalo wabula bakolere wamu ne KCCA okusobola okugonjoola ekizibu ebinyiga abantu.

Hajjati Sharifah Buzeki
By Huzaima Kaweesa
Journalists @New Vision

AKULIRA ekitongole kya KCCA,Hajjati Sharifah Buzeki, akungubagidde abantu abaafiiriddwa abantu baabwe n’emmaali mu mataba agaatataaganyizza Bannakampala kyokka n’asaba abakulembeze abalonde mu kibuga Kampala okukomya Entalo wabula bakolere wamu ne KCCA okusobola okugonjoola ekizibu ebinyiga abantu.

Bino abyogedde abyogeredde ku kitebe ky’Egombolola ye Nakawa bw’abadde yetabye ku kijjulo ky’okusibulula Abasiraamu ekyategekeddwa ekitongole kya KCCA okusiibulula abakozi bakyo kw’ossa ne bakansala Abasiraamu mu Kanso y'e Nakawa abegattira mu kibiina kya UMAT Muhammad.

Buzeki ategezezza nti Bannakampala betaaga obuweereza nga  abakulembeze abalonde basaanye okussa ku bbali entalo zaabwe bakolere wamu ne KCCA okulabanga ensonga zonna ezisoomoza Banna Kampala omuli ekizibu ky’emyala, kasasiro n’ebirala.

Sipiika w’Egombolola ye Nakawa Godfrey Luyombya amulombojedde ebimu ku bizibu ebibasomooza omulin n’abasiraamu okuba nga tebalina kifo kitongole webasaalira kyokka Buzeki n’abasuubiza okufuna engeri yonna esaanidde gy’abaduukiriramu bafune webasaalira.

Ssentebe w’ekibiina kya UMAT Muhammad omwegattira bakansala Abasiraamu mu Nakawa, Muhammad Muwanika asiimye nnyo Buzeki okubalambulako n’amuloopera ensonga y’akatale ka KCCA e Kitintale  akaluddewo okumalirizibwa nti kizinngamya eby’enfuna by’abasuubuzi abakolerayo omuli n’Abasiraamu n’amusaba okutunula mu nsonga eno