Ekibiina kya NRM kyongezza ssente ku banaavuganya mu kamyufu

Ekibiina kya NRM kyongezza ssente ku banaavuganya mu kamyufu

Ekibiina kya NRM kyongezza ssente ku banaavuganya mu kamyufu
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EKIBIINA kya NRM kyongezza ssente ez’okuwandiisa bammemba abaagala okuvuganya ku bifo ebyenjawulo mu kamyuufu k’ekibiina. Ssaabawandiisi wa NRM, Richard Todwong yalangiridde ensimbi ezigenda okusasulwa abanaavuganya mu kamyufu bwe yabadde afulumya enteekateeka ey’enkomeredde egenda okugobererwa    mu kulonda akamyuufu k’ekibiina kwossa n’abakulembeze b’ekibiina ku lukiiko olufuzi
olw’oku ntikko nga omukolo guno gwabadde ku kitebe ky’ekibiina e Kyadondo mu Kampala.
1 Abaavuganya ku bifo bya palamenti ssente zongezeddwa okutuuka ku bukadde 3  kuva ku 2 mu kamyufu akaggwa.

2 Abaagala okuvuganya okukwattira
NRM bendera ku kifo kya
pulezidenti baakusasula obukadde
20.
3 Abaagala okuvuganya ku kifo
kya ssentebe wa NRM bakusasula
obukadde 20.
4 Ekifo ky’omumyuka wa ssentebe wa NRM asooka obukadde 10
5 Omumyuka owookubiri owa Ssentebe wa NRM (omukyala)
obukadde 10 6Abamyuka ba ssentebe ba NRM
obukadde 5.
7 Abakulembeze b’obubondo bwa NRM akakadde 1.
8 Bassentebe ba NRM ku mutendera gwa distulikiti baakusasula emitwalo 50 .
9 Loodi meeya akakadde kamu n’ekitundu 10 City councilor 500,000 Loodi kansala akakadde 1 , ssentebe wa LC 5 akakadde 1, LC 5 kansala 200,000 , bameeya b’amagombolola akakadde 1 , bameeya ba munisipaali emitwalo 75, bakansala ba munisipaali 100,000 , bakansala  ’amagombolola 20,000/- , bakansala ab’oku miruka 20,000/- ,ba ssentebe b’ebyalo 10,000/-. Todwong yannyonnyode nti ssente zongezeddwa okuyambako ku nzirukanya y’emirimu mu kibiina ssaako n’okwagala okukendeeza ku muwendo gw’abo oluusi abaagala okweyiwa mu bungi mu ngeri eyekinyumo okugyayo empapula okuvuganya so  ga tebakitegeeza. Kati baagala abo bokka abeetesetese obulungi bebaba besowolayo okuvuganya