NRM efulumizza enteekateeka z’okulonda kwayo

9th April 2025

NRM efulumizza enteekateeka z’okulonda kwayo

Akulira akakiiko mu NRM, Tanga Odoi (ku ddyo) lwe yasisinkana abawandiisa abantu mu kibiina gye buvuddeko.
NewVision Reporter
@NewVision

EKIBIINA kya NRM kirangiridde enkyukakyuka mu mateeka aganaagobererwa mu kulonda kwa 2026 ne balaga enkola empya ezigenda okuyitwamu okufuna abanaakwatira ekibiina bendera.
Abaagala okwesimba ku bifo okuli; Sipiika wa Palamenti, omumyuka wa Sipiika, abakiise mu Palamenti y’Obuvanjuba bwa Africa n’abakulembeze b’akabondo k’ababaka ba NRM baakusooka kukubwako kalulu.
Enkola ebaddewo olukiiko lwa NRM olwa Central Executive Committee
 CEC) lubadde lusalawo abalina okwesimba ku bifo ebyo waggulu. Ssente z’abavuganya
ku Bwapulezidenti bw’eggwanga zaalinnyisiddwa okuva ku bukadde 10 okutuuka ku 20. Abaagala obubaka bwa Palamenti zaavudde ku bukadde 2 okutuuka ku 3.
 Okulonda akabondo k’ababaka ba NRM aba Palamenti kwakubeerawo wakati wa May 20-
22, 2026.
 Entegeka z’okulonda Sipiika n’omumyuka we, kwakubeerawo wakati wa May 20-23, 2026.
 Okulonda abaagala ebifo bya Palamenti y’Obuvanjuba bwa Africa, kwakubeerawo okuva nga August 20-24, 2027.
 Abaagala obwassentebe bwa LC
1 kujja kubawo wakati wa April
24-30, 2025.
 Okuva nga May 1-5, kwe kunoonya obululu eri abaagala obwassentebe
bw’ebyalo ate okulonda kubeerewo nga May 6, 2025. Ku lunaku lwe lumu ekibiina lwe kijja okusalawo olukiiko lwa L.C.
 Nga May 12, ekibiina kijja kutegeka olukalala lw’abalonzi balonde n’obukulembeze bw’ekibiina mu miruka oba waadi.
 Ssaabawandiisi w’ekibiina waakufuna enkalala zonna nga May 15 ategeka ligyesita y’obumyufu.
 Nga May 16, 2025, Ssaabawandiisi ajja kuba amalirizza okutegeka enkalala era balondereko n’obukulembeze mu ggombolola, Town Council ne munisipaali.
 Nga May 19, ekibiina lwe kinaalonda obukulembeze mu munisipaali ne City.
 Okuva nga May 19-23, 2025 abavuganya ku bifo by’abavubuka,m abaliko obulemu n’abakadde ku byalo baakussaayo okusaba.
 Nga May 23, 2025, ekibiina kyakulonda abakulembeze b’akabondo k’abakozi n’abasuubuzi ku byalo.
 Nga May 24, ekibiina lwe kinaalonda abakulembeze n’ababavubuka, abaliko obulemun’abakadde ku byalo. Okuva nga May 24-31, kwe kujja okuba okukung’aanya ebivudde mu kulonda wonna.
 Wakati wa June 17-27, 2025 lwe bajja okuwandiisa abavuganya ku bubaka bwa Palamenti, bassentebe ba disitulikiti, Loodi Mmeeya, bakkansala ba disitulikiti n’abo ku
City Hall.
 Okuva nga July 1- 31, 2025, bajja kutongoza manifesito ya 2026-2031 etuumiddwa ‘Kisanja Manifesto’.
 Okutandika July 1-14, wajja kubaawo okunoonya obululu eri abaagala obubaka bwa Palamenti,n bassentebe ba Gavumenti z’ebitundu, aba disitulikiti, Loodi Meeya ne bakansala ba disitulikiti.
 July 10, wajja kubaawo ttabamiruka w’abakozi mwe banaalondera bakiise ku magombolola.
 July 16 ke kamyufu k’okulond ababaka ba Palamenti era bwe wanabeerawo obwetaavu bw’okuddamu okulonda kwa kubeerawo okuva nga July 17 ne August 30.
 July 24, 2025 kwe kulonda bassentebe ba disitulikiti, Loodi Meeya, bameeya ba City, bakansala ba disitulikiti ne bakansala ba City.  August 18, kulonda bakulembeze ba Gavumenti z’ebitundu mu munisipaali ne City.   August 22-25, wajja kubaawo ttabamiruka mwe bajja okulondera agenda okukwatira ekibiina bendera ku Bwapulezidenti, obukulembeze bw’obubondo obw’enjawulo awamu n’abagenda okukwata bendera ku kifo ky’abavubuka, abakadde n’abaliko obulemu.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.