Abakulembeze mu Kampala bagaanye okuteesa ku mbalirira ya KCCA

Nov 13, 2024

ABAKULEMBEZE ab’enjawulo mu Kampala, Loodi Mmeeya Erias Lukwago be yayise okumuwa ebirowoozo ku mbalirira ya KCCA eyakendeezeddwa okuva ku buwumbi 803

Abakulembeze mu Kampala bagaanye okuteesa ku mbalirira ya KCCA

Hannington Nkalubo
Journalist @Bukedde

ABAKULEMBEZE ab’enjawulo mu Kampala, Loodi Mmeeya Erias Lukwago be yayise okumuwa ebirowoozo ku mbalirira ya KCCA eyakendeezeddwa okuva ku buwumbi 803 okudda ku buwumbi 555 bayimirizza eky’okugiteesaako okutuusa ng’amagombolola gaweereddwa obuyinza okwekolera ku nsonga zaabwe.

Jimmy Dyeyogera Ng’ateesa Mu Bukambwe.

Jimmy Dyeyogera Ng’ateesa Mu Bukambwe.

Bawadde ensonga nti, singa bakkiriza, bo bye baludde nga basaba emyaka egisoba mu 10 tebigenda kubaweebwa.

Olukiiko olwatudde ku City Hall nga lukubirizibwa Loodi Mmeeya Erias Lukwago, lwetabiddwaamu Bammeeya b’amagombolola okuli owa Central, Salim Uhuru, bakansala bonna okuva mu nkiiko z’amagombolola n’abatuula ku City Hall.

Bammeeya, bakansala n’abakulembeze ab’enjawulo bino olwabiwulidde bangi ne basalawo nti, tebageza ne bateesa.

Kyokka Mmeeya wa Kampala Central n’abakulembeze aba NRM okuli; Salim Uhuru, kansala Siraji Bukenya, Jimmy Dheyongera baagambye nti, embalirira bagireke eteesebweko n’okuyisibwa kyokka obuyinza bwabwe nabo babubawe.

Register to begin your journey to our premium content .