Abakugu bagenda kubasomesa eby’emikono olwo kibayambe okweyimirizaawo ba bbaabwe ne bwe baba bafunye okusomoozebwa kw’ebyensimbi mu maka.
Amyuka aduumira ekibinja ky’amagye ekisooka e Kakiri, Brig Gen Peter Nabaasa asabye bakyala b’abaserikale okufaayo okuyiga eby’emikono kuba bafuna obukugu obw’enjawulo obuyinza okubatuusa mu kitangaala kibayambe okweyimirizaawo mu bulamu obwa bulijjo.
Yasinzidde mu nkambi e Kakiri bwe yabadde afulumya bakyala b’abajaasi abaakuguse mu kukola ssabbuuni w’emiti nga bano baasomedde ennaku 8.
Yabasabye okukola ssabbuuni bagatteko n’okutunga n’okufumba ssaako okukola emirimu emirala egy’omu mutwe baleme kufa ku kukola ssabbuuni yekka.
“Bw’obeera n’omusajja nga mukolera wamu n’amaka ganguwa. Mbasaba mukolere wamu ne babbamwe kisobozese amaka okutambula obulungi ate nga galimu essanyu.” Nabaasa bwe yayongeddeko.
Ye omwogezi w’ekibinja ky’amagye ekisooka Maj Charles Kabona yagambye nti abakyala babadde basanga okusomoozebwa kungi mu kwerabirira naddala ng’abaami baabwe batwaliddwa mu bitundu ebyewala okukola.
Abakyala beebazizza nnyo abakulu mu magye okuleeta ekirowoozo kino kuba kigenda kubayamba okubaako n’obukugu bwe bamanyi ate ne bye batunda bafunemu ssente ezibabeezaawo ne famire zaabwe.