Baagala ebbago ly’etteeka ku yinsuwa y’ebyobulamu liyisibwe mu bwangu

"Eryasooka okuyisibwa mu Palamenti ya 10 omwaka oguwedde, yakomezebwawo omukulembeze w’eggwanga ng’agamba nti lyalimu ebirumira.

Baagala ebbago ly’etteeka ku yinsuwa y’ebyobulamu liyisibwe mu bwangu
By Ruth Nazziwa
Journalists @New Vision
#Amawulire

Akakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulamu kasoomozezza minisitule y’ebyobulamu okwanguya okukola ku nteekateeka z’okubaga ennongoosereza mu tteeka erirung’amya yinsuwa y’ebyobulamu erimanyidwa nga “National Health Insurance bill” oluvannyuma lw’eryasooka okuyisibwa mu Palamenti ya 10 omwaka oguwede, okukomezebwawo omukulembeze w’eggwanga ng’agamba nti lyalimu ebirumira.

Abamu ku bakungu abeetabye mu lukung’aana.

Abamu ku bakungu abeetabye mu lukung’aana.

Joel Ssebikaali, nga amyuka ssentebe w’akakiiko ka palamenti ku by’obulamu era omubaka wa Ntwetwe bwe yabadde mu lukungaana olw’okukubaganya ebirowoozo ku bwetaavu bw’etteeka lino olwategekebwa ekitongole kya Save for Health yategeezezza nti bo nga ababaka ba palamenti baakola ogwabwe era kati minisitule y’ebyobulamu y’esigalide okukola ogwayo.

“Twafunye omukisa munene nnyo okubaga etteeka lya yinsuwa lino ne sipiika aliwo kati aliwagira era tutambula naye okulaba nga tuligussa mangu. Kati minisitule y’ebyobulamu erina okwanguwa okulireeta kuba kati be balirina,” Ssebikaali bwe yagambye.

 Yayongeddeko nti minisitule erina okwongera okulyekenneenya ,balabe ebyalimu babireete olwo nabo bongere okulyetegereza era balabe bye bayinza okwongeramu bayite n’abantu bababuulire.

Makaire akulira Save For Health ng'annyonnyola.

Makaire akulira Save For Health ng'annyonnyola.

Fredrick Makaire, akulira ekitongole kya yinsuwa ekya Save For Health agambye nti ebbago lino lyalimu ebirumira nkumu kubanga yinsuwa ez’obwanannyini zaali zirekebwa bbali ate nga n’abalina yinsuwa ez’obwannannyini mu bbago lino kyali tekirambikibwa bulungi kulaga we zigwa, nga zigenda kusigala nga zikola oba nga zakuggyibwawo ekyaleetawo obweralikirivu obwo.

 “Twali tukkirizza ebbago lino litambule nga tulina essuubi nti ebinaaba tebiteredde tunaabitereeza mu maaso naye omukisa bwe gwakomyewo ng’ebbago lino liddizibwayo mu minisitule y’ebyobulamu,ne tulowooza nti ke kadde ensonga ebyali birumira tubitereeze.

Wabula ensonga ya palamenti ne minisitule y’ebyobulamu n’abalala okuddamu buto okwebuuza ku nsonga y’ebbago lino tetukkiriziganya nakyo kubanga tulowooza nti kuba kwonoona ssente za muwi wa musolo,”Makaire bwe yagambye. 

Dr Charlse Olaro avunaanyizibwa ku by’obujjanjabi ebisookerwako mu minisitule y’ebyobulamu yagambye nti nga minisitule bakyaliko okwebuuza kwe babadde bakyalimu nga bwe bateekateeka ebbago lino kubanga yinsuwa y’ebyobulamu tekoma ku byansimbi byokka wabula ne bye bakola ng’abasawo ekisobozesa buli omu okufuna obujjanjabi obulungi bwe yeetaaga.