BAMINISITA basatu, abaawangulwa mu kamyufu ka NRM ne baddukira mu kkooti y’ekibiina, baviiridemu awo ng’ogusima ebbumba emisango gyabwe bwe gigobeddwa.
Ku bano kuliko; minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza ebisookerwako, Dr. Joyce Moriku Kaducu ng’ono yawangulwa Bernadette Chandia ku kifo kyabaddeko okumala ebbanga eky’omubaka omukyala owa disitulikitti y’e Moyo,
Omulala ye minisita omubeezi ow’obwegassi, Gobi Fredrick Gume naye akakiiko kaakakasizza nti bituufu yawangulwa ku kifo ky’omubaka owa Bulamogi North West mu distulikiti y’e Kaliro era nga kati bbendera yatwalidwa George Patrick Kasajja.
Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu Victora Rusoke Businge naye akakiiko kaakizudde nti akalulu kamumegga ku kifo ky’aliko eky’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kabarole nga yawanguddwa Kirungi Pamera.
Akulira eby’amateeka mu NRM, Enock Barata yategeezezza nti akakiiko era kaasazizzaamu obuwanguzi bw’omubaka Moses Angundru ng’ono kyakakasiddwa nti yabba obuwanguzi bwa Dramviru Eric Sabiiti ku kifo ky’omubaka wa Terego West mu disitulikiti y’e Terego.
Yannyonnyodde nti ku Lwomukaaga nga August 16, 2025 ensala zonna ku ku bifo by’ababaka zijja kuba ziweddeyo olwo batandike okuwa ensala ku bassentebe ba disitulikiti, bammeeya ne bakansala.
Akakiiko era kakyagenda mu maaso n’okuwulira emisango gy’abataamatira byava mu kulonda mu kamyufu k’ekibiina ku bifo bya gavumenti ez’ebitundu.
Abaakeeyanjula n’okuwaayo obujulizi eri akakiiko kwe kuli abavuganya ku kifo kya loodimmeeya wa Kampala okuli Thaduis Musoke Nagenda ne Yosam Mayambala nga bano baloopa eyabawangula Mahad Kaweesa nti yababba obululu nti era n’okusoma teyasoma