CINDY, Jackie Chandiru ne Lillian Mbabazi abaali mu kibiina kya kya Blue 3 bazzeemu okkwegatta awamu ne basanyusa bannayuganda abamaza ebbanga eddene nga babasubwa oluvannyuma lw'okumlala ebbanga nga buli omu ali bibye oluvannyuma lw'ekibiina okusajjuka
Blue 3 nga basanyusa abantu ku Skyz e Naguru
Abayimbi bano bategese ekivvuylu ekyatuumiddwa Exclussisve Performance ekyabadde ku Skyz e Naguru era Lillian Mbabazi yalabiddwako ng'akulukusa amaziga oluvannyuma lw'okulaba abantu nga bazze mu bungi okubawagira.
Abadigize beewuunyizza nnyo omutindo abakyala bano bwebaataddewo oluvannyuma lw'okumala ebbanga nga tebali bonna kyokka ku stage baalaze nti ddala bayimbi.
Abadigize nga banyumirwa endongo yaba Blu 3
Baakubye obuyimba okwabadde Nsanyuka Nawe, Kankyakyankye, Hitaji n’endala ng’eno abadigize abamu banyumirwa bwebazina amazina ate abalala nga batudde banyumirwa omuziki.
Bategeezezza nti kino babadde babalozaako buloza kubanga baagala okubategekera ekivulu ekinene omwaka ogujja ku lunaku lw’abakyala mu nsi yonna
Levixone ne Kenzo beebasoosewo ne basanyusa abantu nga kwotadde ne band ya Maestro era eyakubidde aba Blu 3.