Amyuka aduumira Poliisi awadde ebiragiro ebikakali eri abakola ku kkamera

MAJ GEN. Geoffrey Tumusiime Katsigazi, omumyuuka w’omuduumizi wa poliisi alambudde ekifo omutendekerwa n’okukola ku bya kkamera zonna mu ggwanga n’awa ebiragiro abakolayo nti bakette n’okukwata abamenyi b’amateeka ab’omutawaana.

Amyuka aduumira Poliisi awadde ebiragiro ebikakali eri abakola ku kkamera
By Hannington Nkalubo
Journalists @New Vision

Yasanyuse okulaba nti obukugu mu kukozesa kkamera bweyongedde nnyo era n’alabula abamenyi b’amateeka okwekaabira kubanga buli omu ajja kuzuulibwa gy'anaaba yeekwese n’ebizibiti bye.  

Yalabudde nti abaagala okutataaganya Gavumenti nti beekalakaasa kati babalaba mu buli nsonda. Yalagidde bakwate ababbi b’emmotoka, amasimu n’abamenyi b’amateeka abatawanya ebitundu.

Maj. Gen. Tumusiime, amyuka omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga

Maj. Gen. Tumusiime, amyuka omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga

Tumusiime yalambudde n'ettendekero lya kkamera zino ezassibwa ku nguudo erisangibwa e Kikandwa.

Yabadde n’akulira ekitongole kino, Yusuf Ssewanyana n’abakugu abalala ne bamulaga obukugu nti kati basobola  okweyambisa kkamera ne balondoola omumenyi w’amateeka ne bamuzuula n’ebizibiti bye nti ne bw'aba mubbi wa mmotoka, teri waasobola kugiyisa kugifulumya ggwanga nga tebamukutte.

Ssewannyana yannyonnyodde nti balina abaserikale abakugu bangi nnyo era obubbi naddala obw'emmotoka bukendedde ate nga bakyeyongera okubafuuza buli wamu.

Gye buvuddeko , kkamera zaayamba okukwata abeenyigira mu kukola olukwe omwafiira omuwala Maria Nagirinnya ow’e Nsambya gwe baawambira e Lungujja , ebibinja by’abavubuka abatambulira ku pikipiki za bodaboda okubba Abayindi , ababbira ku Northern By pass, n’Abachina be babbako ssente ssaako okunonyereza ku mmotoka eziba zinyagiddwa.