TEL AVIV, Yisirayiri AMERIKA etutte lugogoma y’emmeeri ennwaanyi endala
ey’omutawaana okumpi ne Yisirayiri era ne yeeyongera okuggumira nga yeetegekera olulumba olw’oku ttaka okufaafaagana n’abakambwe ba Hamas aba Palasitina.
Emmeeri endala gyeyongedde mu liyanja lya Mediteterrean ye USS Dwight Eisenhower carrier ng’ekubyeko ennyonyi ennwanyi 70 ez’ekika kya F-16.
Okufaanana n’emmeeri Ford eyasookayo, Eisenhower eyongeddwaayo okwongera okulabula nti tewaba oluyi oba eggwanga endala erigezaako okweyingiza mu
by’olutalo lwa Yisirayiri nga singa libaawo ennyonyi ku lugogoma zino awamu ziri 140 ezaakuyingirawo.
Mu byonna, ziri mu kwetegereza mbeera nti si kulwa nga aba Hezebollah e Lebanon beetaba butereevu mu lutalo luno ate nga bbo bawagirwa Iran ekiyinza okugiyingizaamu butereevu olutalo ne lugaziwa mu kitundu, America ky’etayagala. Okuva abalwanyi ba Hamas bwe baakola olulumba olw’akabi ‘Operation Al Aqsa Floods’ ku Isreal mwe battira abantu abasoba mu 1,300 abalala 199 ne bawambibwa, Yisirayiri nayo yalangirira ekikwekweto ‘Operation Swords of Iron’ n’etandika okukuba Palasitayini ng’ekozesa ennyonyi ennwanyi ez’obulabe nga yeesasuza.
Katikkiro wa Yisirayiri, Benjamin Netanyahu ku wiikendi yalambudde abalwanyi b’eggye lya Israel Defence Force (IDF) mu ddwaaniro gye bali mu kulinda ekiragiro ekiddako n’abazzaamu amaanyi okuba obulindala ku kigenda okuddako kuba aba
Hamas mu Gaza ky’abadde kituuza.
Ekitebe ky’eggye lya Amerika ekya Pentagon kyategeezezza nti okusindika emmeeri eno ng’ate kyakasindikayo endala eyitibwa USS Ford carrier strike group kyasinze kuva ku bubonero obulaga nti abakambwe ba Hezbollah okuva mu Lebanon baagala
kwenyigira mu lutalo olwo.
Eggulo Netanyahu bwe yabadde mu lutuula ya palamenti yaabwe Knesset, yayongedde
okulabula amalindirizi ng’abalwanyi ba Hezebollah e Lebanon nti tebageza ku mulundi
guno okukola ensobi nga ze bazze bakola okwagala okweyingiza mu nsonga zino mu kwewaga. Yanokoddeyo ebigambo, Pulezidenti Biden bye yakozeseza ng’alabula
abalwanyi abalala obuteeyingiza mu lutalo olwo nti; TEBAGEZA kuba nti oyo yenna aneetantala kajja kumujjuutuka; ye Netanyahu yagasseeko nti; Biden yalabudde akozesa kigambo, Temugeza’ naye nze ng’amba bw’eti; ‘Kekabatanda ne mutugezesa’
MINISITA WA IRAN ASISINKANYE OMUKAMBWE WA HEZBOLLAH
Bino we bijjidde ng’akulira Hezbollah, Hassan Nasrallah yaakasisinkana minisita wa Ira ow’ensonga z’ebweru ayitibwa Hossein Amir-Abdollahian mu kibuga Beirut ekya Lebanon.
Olwa Iran ne Israel okuba akabwa n’engo ate nga Iran y’evujjirira aba Hezebollah, kino kye kisinze okukanga America.
America bw’egassegasseemu nti singa amawanga ago agatalima kambugu amalala mu kitundu ne Israel mu kitundu geegatta, Israel esobola okufunira ddala obuzibu. Abakulu bombi baalabudde Yisirayiri okukomya embagirawo jjoogo ly’okusuula bbomu ku
Gaza nti era bwe kagitanda neyeesogga Gaza ne ttanka zaayo zeekung’anyiriza ku nsalo, eyolekedde ttabbu ey’amaanyi gye bataasobodde kulambulula. Kyokka mu ngeri eraga nti olutalo olwo lutandika butandisi, Amerika mu kifo ky’okugamba ku Yisirayiri, yasindise busindisi mmeeri eno nayo n’erabula amawanga agatakolagana na
Yisirayiri bwe bubakeeredde singa beenyigira mu lutalo.
Aba Hamas nabo tebatudde. Okulemesa Yisirayiri okuddamu okuwamba okwezza ebitundu by’e Gaza nga bwe kyali mu kusooka, Hamas eteze bbomu 200,000 ekyatiisizza amagye ga Yisirayiri ago obutamala gapapiriza kwesogga Gaza n’amagye
g’oku ttaka.
EMMEERI AMERICA Z’ESINDISE ZITEEZE IRAN, SYRIA NE LEBANON
Emmeeri America z’esindise mu ddwaaniro tezikoma ku kuba nnyonyi nnwaanyi ze yeetikka zokka nayo kennyini eriko emmundu ez’omulembe n’ebyuma ebitegulula bbomu mu mazzi singa ziba mu ddwaaniro. Syria etakolagana na Yisirayiri nayo eri bulindaala ku kiyinzaokuddirira era yeeswanta kuyamba Hamas okwemala ekiruyi kye
balina ku Yisirayiri olw’entalo emabega mw’ezze eweebuulirwa. Amawanga asatu (Syria, Lebanon ne Iran) kati ge galumya America omutwe ku ki kye gayinza okuzzaako
okuyamba Hamas. Ekyasinze okukanga America y’engeri omukambwe wa Iran Ayatollah Ali Khamenei ne Pulezidenti wa Iran, Ebrahim Raisi okukulisa Hamas olw’okutirimbula bannansi ba Yisirayiri okusinziira ku mawulire ga Washington Post n’aga Wall Street Journal mu Amerika. Wabula, minisita wa Amerika ow’ebyokwerinda, Lloyd Austin yagambye nti buli kimu bajja kukikola okwetegekera amawanga ago singa gulumba Yisirayiri kubanga galudde nga gagyewerera ate nga bakizudde nti kano ke kadde ke gayinza okukozesa