America etaddewo olunaku okukungubagira eyali Pulezidenti Jimmy Carter

PULEZIDENTI wa America Joe Biden alangiridde nti olunaku lwa nga January 9, 2025 lunaaba lunaku lwa kuwummula olw’okukungubagira eyaliko Pulezidenti Jimmy Carter eyafudde ku Ssande ku myaka 100.

America etaddewo olunaku okukungubagira eyali Pulezidenti Jimmy Carter
By Wilson Williams Ssemmanda
Journalists @New Vision
#Amawulire #Jimmy Carter #America #Lunaku #Kuteekawo #WASHINGTON DC # America

PULEZIDENTI wa America Joe Biden alangiridde nti olunaku lwa nga January 9, 2025 lunaaba lunaku lwa kuwummula olw’okukungubagira eyaliko Pulezidenti Jimmy Carter eyafudde ku Ssande ku myaka 100.

"Nkoowoola Abamerica mwenna okukung’aana ku lunaku luno mu bifo ebisinzibwamu olw’okusabira n’okussa ekitiibwa mu mirimu gy’omugenzi James Earl Carter Jr.” Biden bw’agambye.

Biden Ne Mukyala We Lwe Baakyalirako Omugenzi Carter Ne Mukyala We

Biden Ne Mukyala We Lwe Baakyalirako Omugenzi Carter Ne Mukyala We

Bino Biden abiyisizza mu kiwandiiko ky’amaka g’Obwapulezidenti aga White House n’asaba n’abantu mu nsi yonna okwegatta ku America ku olwo bakungubagire omusajja abadde ow’omugaso mu nsi yonna naddala bwe kituuka ku nteeseganya ez’okuleetawo emirembe.