AMBASADA wa Uganda mu kitongole kya UNESCO, Doreen Ruth Amule asabye gavumenti okwanguyako okuyisa enkola enalungamya eby’obuwangwa kiyambe ku kukuuma n’okutaasa ennono z’abantu.
Amb. Amule agamba nti obuwangwa bwa Uganda okwetoloola mu mawanga agasukka 50 kya bugagga era omukisa ebisaanye okweyambisibwa, okutumbula enkulakula mu bantu kubanga obuwangwa buno Bukola ebitundu 7.7 ku buli 100 ku by’obulambuzi mu Uganda.
Okwogera bino yasinzidde ku National Theatre mu Kampala ku mwoleso ogusoose ogw’obuwangwa obutakwatibwako ngalo gyebuvuddeko.
Amule ng'aggulawo omwoleso
“Nkubirizza abavunanyizibwa ku kuteekesa ebintu mu nkola okunyweza enkola ezitumbula eby’obuwangwa, okusiga ensimbi mu kukuuma ennono n’obuwangwa era mpita Bannamusigansimbi okukozesa tekinologiya okukuuma obuwangwa bwaffe,” Amule bweyategezezza.
Amb. Amule mu ngeri y’emu yasabye ng’okutumbula obuwangwa kukolebwa, abakyala bakulembezebwe mu kaweefube ono ow’okuzuukusa n’okuzza obuggya ennono n’obuwangwa bwa Bannayuganda.
Ye Francis Peter Ojede ng’akulira ekifo kya National Theatre yateegeezezza ng’enkola y’okutumbula n’okukulakulanya obuwangwa bweri mu kubagibwa, etteeka ku biyiiye nalyo linatera okuggwa era n’ateegeezza nga bwebali mu nteekateeka y’okukulakulanya ekifo kino nga baakukola ku paakingi n’ettaka eririranyeewo.
“Ekizimbe kino ekya ‘National Theatre’ si kyakukwatibwako nga bwebibadde bitambuzibwa ku mitimbagano. Gavumenti era yasalawo nti batandike ebifo ebirala era Gulu, Lira, Mbale, Mbarara & Fortportal tusuubira by’ebijja okusooka ate oluvanyuma tujja kuzimba mu Arua, Soroti, Masaka,” Ojede bweyayogedde.
Akulira ekibiina ekitaba amakaddiyizo agasangibwa mu bitundu ki eby’enjawulo mu ggwanga ki Uganda Community Museum Association, Abraham Kitaulwa, yagambye nti ebifo bino bikoze kinene mu kukuuma n’okutumbula obuwangwa bwatyo n’asaba abantu okwetanira okwagala obuwangwa bwaabwe.
Okusobola okwagazisa abaana n’abavubuka obuwangwa bwaabwe n’okubukuuma, bagenze batondawo ebibiina by’obuwangwa ku masomero ebiyitibwa ‘Heritage Clubs’ n’essuubi nti bajja kukula nga baagala obuwangwa biveemu emiganyulo.
Myuziyamu
Omukolo guno gwetabiddwako Omumyuka w’akulira ekitongole kya Unesco mu Uganda, Daniel Kaweesi eyasabye wabeerewo okwongera okunoonyereza ku by’obuwangwa bwa Uganda obw’enjawulo era buwandiikibwe ate n’asaba ssente zoongerwe mu kutumbula obuwangwa bwa Bannayuganda singa binabeera byakukuumibwa bireme kusaanawo.
Mu byayoleseddwa kwabaddeko omukolo gw’okutuuma abaana erinnya oguyitibwa Empaako Bunyoro ne Tooro, amazina n’ebivuga ebiyitibwa Bigwala e Busoga, Madi Bow-Lyre, Olugero lwa Koogere e Tooro ne Busongora, Okukomaga olubugo mu Baganda, omukolo gw’okuteekateeka omwana omulenzi e Lango