AMBASADA wa America mu Uganda H.E Natalie Brown asabye abaana abawala abakyali mu masomero okubeera abavumu mu buli kyebakola era banywerere ku birooto byabwe lwe bajja okubeera ab’enjawulo munsi.
Natalie bino abyogedde bw’abadde agenyiwaddeko ku ssomero lya Nabisunsa Girls’ Secondary School nga wano ayaniriziddwa omukulu w’essomero lino Hajjat Zulaika Nabukeera Kabuye nga omukolo gwetabiddwako n’omulangira Dr. Kassim Nakibinge Kakungulu.
Natalie asinzidde wano n’ategeeza nga embeera z’abamu ku baana abawala bweziddirira nga kino kiva mu kwesembya ky’agamba nti kino kisaana okukomezebwa.
Ambasada wa America mu Uganda ng'asimba omuti ogw'ekijjukizo ku Ssomero lye Nabisunsa
Awadde eky’okulabirako eky’abakyala ab’amaanyi mu ggwanga n’ategeeza nga bano bwebaatuuka ku biruubirirwa byabwe olw’obuvumu n’okunywerera ku biruubirirwa byabwe nga tebabuzabuuzibwa.
Asabye abayizi bonna gyebali okubeera abagonvu eri abasomesa
baabwe kw’ossa n’abazadde kubanga y’engeri yokka gyebajja okugenda mu maaso.
Natalie awanjagidde gavumenti okwongera okufaayo ku mbeera z’abana abawala kubanga bebazadde era abakulembeze b’enkya abajja okutwala eggwanga mu maaso.
Dr. Kassim Nakibinge ategezezza nga essomero lino bweryatandikibwawo n’ekigendererwa ky’okusomesa omwana omuwala era nga akulira mu ddiini n’alaga essanyu okulaba nga essomero lino likyagenda mu maaso ku mpagi ezaalitandikisaawo.
Kyokka Nakibinge asiimye nnyo H.E Natalie okujja okukyalako ku ssomero lino n’amuiima olw’obuweereza obulungi okuviira ddala weyajjira mu Uganda mu buseera by’okusomoozebwa kw’ekirwadde kya Covid 19.
Asabye abayizi okunywezanga obumu okusinga okubeera mu njawukana bwebaba nga baakugenda mu maaso n’okukulakulanya eggwanga n’abasaba okukimanya fenna tuliwo lwa kwagala kwa Katonda.
Akulira essomero lino Hajjat Zulaika Nabukeera Kabuye alaze essanyu olw’okukyaza abagenyi bano n’asaba abawala okufaayo okubeerako eky’enjawulo kyebabeera munsi eno.
Ategezezza nga abaana abawala bwebasanga okusomoozebwa kwa bassedduvutto abatera okubalimbalimba n’abasaba abaana okubeera abegendereza ennyo obutakemebwa.
Ssentebe w’olukiiko olufuzi ku ssomero lino,Jumah Yusuf Walusimbi ategezezza nga bwebasanyukidde obugenyi buno kubanga basuubiziddwa okubongeramu mu bintu eby’enjawulo naddala mu by’enjigiriza.