Abatuuze baakutte emiggo n’ebiso ne bayingira ensiko okutaasa omuwala ekitaasoboose kyokka oluvannyuma amagye ne poliisi baayingiddewo ne beegatta ku batuuze okusaggula ensiko nga wano omuvubuka eyagambye nti ye Wilber n'afubutuukaayo mu nsiko n'adduka kiwalazzima olwo abatuuze ne bamusimbako olwamukutte ne bamukuba bubi nnyo ekyawalirizza amagye okukuba amasasi mu bbanga okubangumbulula.
Wilber Nga Bamunywezezza
Wilber kaggwensonyi eyasimattuse okuttibwa
Teopisita Twikirize (25) eyabadde ne Natukunda eyawambiddwa yagambye nti bakolera Kyanja nga Natukunda atunda nnyaanya n’obutungulu ate ye atunda mmamba ng’okumuwamba baabadde bava ku mulimu bwe baatuuse ku kikubo eky’omu nkoko ku luguudo lw'e Gayaza omuvubuka eyabadde ayambadde ekikoofiira ku mutwe n'engoye enzirugavu yamukutte omukono n'amwesikambulako we yakwatidde Natukunda .
Abatuuze Nga Bakunganye (2)
Yayongeddeko nti nga bamaze okumuyingiza ensiko yamukubidde essimu n'agikwata ng’akaaba naye ng’eddoboozi terivaayo ng’omuvubuka bw'amugamba nti asirike bw'aba tayagala kumutta, essimu baagenze okuddamu okugikubako ng’envuga naye nga tagikwata ne beekendera kwe kulaya enduulu eyasombodde abantu ne Poliisi.
Luke Owyesigyire omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano yategeezezza nti waliwo abantu babiri abaakwatiddwa ne baggulwako omusango gw’okuteega omuntu ne bamubba nga balinda omuwala akakase nti beebo.
Wilber Eyakwatiddwa (4)
Oluvannyuma nga Wilber amaze okukwatibwa yatwaliddwa ku poliisi ye Kasangati abasirikale n’abatuuze baazzemu okuyingira ensiko n’etooki okunoonya Natukunda ng’ono oluvannyuma poliisi yamusanze mu muzigo gwe e Kitettika ku lwe Gayaza .
OMUWALA AZUUSE N'ALOJJA BYE YAYISEEMU
Florence Natukunda eyasimatuuse okuttibwa anyumizza: Omuvubuka bwe yansikambudde n'annyingiza ensiko.
Natukunda Eyasimatuuse Okusobezebwako
Natukunda ng'anyumya
Yankutte mu bulago n'agezaako okumulwanyisa naye ng’alina amaanyi amazima n'awunzeemu kuba abantu okusamba ensiko nga bannoonya nze saabaawulidde wabula omuvubuka yabadde agenda kunsobyako we yalabidde kabangali ya poliisi n'anta n'adduka .
Bwe yadduse nange nadduse kiwalazzima okutuuka ewange gye nnawuliridde amasasi nga gavuga ku ssaawa 7 ez’ekiro abasirikale bazze ne mukwano gwange Twikirize ne bamumbuuza ebyabaddewo ne mbannyonnyola.
Amazima singa teyabadde poliisi ogubuvubuka gwabadde gugenda kunsobyako kuba yabadde atandiise okunzigyamu empale, yadde nnamulemesezza okutwala essimu naye ssente emitwalo 10 zo yazitutte .