Abadde yeetikka emigugu mu katale n'adda ku kyalo gye bamuzaala bamukutte abba emmwaanyi ne bamutemako okugulu

ABAKUNGUBAZI bataayizza ekibinja ky'ababbi b'emmwaanyi ne bakwatako omu ne bamutema okugulu n’alonkoma banne.

Abadde yeetikka emigugu mu katale n'adda ku kyalo gye bamuzaala bamukutte abba emmwaanyi ne bamutemako okugulu
By NewVision Reporter
Journalists @NewVision
#Amawulire #Kampala #Bitereka #Mmwaanyi #Nakaseke

ABAKUNGUBAZI bataayizza ekibinja ky'ababbi b'emmwaanyi ne bakwatako omu ne bamutema okugulu n’alonkoma banne.

Ono abadde akolera mu katale k’e Nakasero nga yeetikka bitereke kyokka Kampala bwe yagaanye n’adda mu kyalo n'atandika okubba.

Abakungubazi Abaasanze Nga Kimuli Bamaze Okumutema. Yabadde Yeegayirira Bamusonyiwe.

Abakungubazi Abaasanze Nga Kimuli Bamaze Okumutema. Yabadde Yeegayirira Bamusonyiwe.

Brian Kimuli, omutuuze ku kyalo Luteete mu ggombolola y’e Kikamulo mu disitulikiti y’e Nakaseke  kabuze kata abakungubazi bamumize omukka omussu oluvannyuma lw'okumukwata lubona ne banne nga babba emmwanyi mu maka ga munnaabwe Joseph Kwikirizza.

Bano babadde n’ebiso nga babadde baagala kutema abatuuze abaabalabye kyokka ne babasinza amaanyi.

Emmwanyi Ezaamukwasizza.

Emmwanyi Ezaamukwasizza.

Kimuli yagambye nti abadde akolera mu katale k’e Nakasero nga yeetikka bitereke gye  yava kati emyezi ebiri okudda ku kyalo Luteete gye bamuzaala  ng'abadde atambula n'abavubuka okuli gwe yagambye nti ye Kamulaali ne Sema nga babba emwanyi ku byalo eby’enjawulo era yakakasizza nti batambula n'ebiso ssinga ogezaako okubalemesa ne bakutema.

Joseph Kwekirizza, nannyini mmwanyi ezabbiddwa yategeezezza nti yabadde ku Lumbe we yafunidde amawulire n’atemya ku bakungubazi abaadduukiridde ne bataayiza omu ku babbi bano, yagasseeko nti ababbi bazze bamubba enfunda eziwera naye ku luno katonda yayambye ne bafunzako omu.

Kimuli Eyatemeddwa Okugulu.

Kimuli Eyatemeddwa Okugulu.

Ali Muwonge ssentebe wa LC1 ne Ssembiro  Kooki  ssentebe wa LCII mu muluka gw’e Luteete mu ggombolola y'e Kikamulo baagambye nti mu kiseera abakungubazi we baategeeredde amawulire ga babbi nabo baabaddewo mu Lumbe ne bavumirira ekikolwa ky'okutwalira amateeka mu ngalo.

Baagasseeko nti obubbi bw’emmwanyi n'ebisolo bungi ng'abasinga okutigomya abantu bakolagana n'abaana enzaalwa ez'omu bitundu ne babazigirira.

 

Yayongeddeko nti ekibinja kya Kimuli kimanyikiddwa ng'era abamu bazze bakwatibwa ne batwalibwa mu kkomera olumaliriaayo ebibonerezo byabwe nga batandikira we baakoma.

Kimuli  yagguddwako omusango ku poliisi y’e Kikamulo ng'oluvannyuma yatwaliddwa mu ddwaaliro e Nakaseke okufuna obujjanjabi nga poliisi bw’egenda mu maaso n'okunoonyereza.