OWOOMUTUBA gwa Mukuma mu Kika ky'engonge Simon Ssembatya atuuziddwa ebika ne bisabibwa okubeera ne Pulojekiti omuva ensimbi okutambuza emirimu gyaabyo.
Minisita w'ebyobuwangwa,ennono n'obulambuzi mu Buganda, Dr. Anthony Wamala yasinzidde ku mukolo guno ogwabadde ku mutala Ssempa e Katikamu-Luweero mu Bulemeezi n'agamba nti kino kyakuwonya ebika okwekulakulanya.
"Ebika byaffe bwetubeera bakubitwala ku mutendera Omulala okuva ku guno gwebiriko Kati; tusaanye okunyweza obukulembeze okuva mu nju okutuuka ku kasolya nga butambula bulungi n'enkiiko enzijjuvu," Dr. Wamala bweyagambye.
Yayongedde n'ategeeza nga bwewaliwo obwetaavu obw'okwagazisa abantu ebika byaabwe ng'ekimu ku birina okusooka okulongoosa embuga zonna eziri mu mitendera gy'obukulembeze zibeere nga zirabika bulungi nga bwolaba amasinzizzo bwegalabirirwa obulungi.
Kopuliyano Kivumbi
"Tuteekwa okuteekawo enkola engenderere erubirira okukuuma Obugagga bw'ebika ku mitendera gyonna nga biteekebwa mu lukiiko lw'abayima," Dr. Wamala bweyawabudde.
Omutaka Kisolo,Mathias Kaboggoza nga y'akulira ekika ky'engonge yakunze bazzukkulu be okwongera okuganjisa ekyambalo ky'olubugo kubanga ekika kino kyekyaluyiiya n'ekigendererwa ky'okutondawo emirimu bwatyo n'akulisa Mukuma Omuggya nti atwale obuvunanyizibwa buno nga bukulu.
Kisolo yeyanjulidde abazzukkulu Ssembatya Ono ng'omubaka we mu ssaza ly'e Bulemeezi n'abasaba bukolagane bulungi.
Omukulu w'essiga lya Lutaaya Kopuliyano Kivumbi yeyatuuzizza ow'essiga Mukuma ku Lwa Ssande May 4,2025 n'amusaba okutambuza obuwereeza buno wakati mu kwekwata Katonda kubanga yamulonze.
Omukolo guno gubaddemu n'okusabira Abagenzi mu nju ya Bamukuma nga kukulembeddwamu,Omumyuka wa Ssabadinkoni we Luteete,Asafu Tamale asabye abantu okukomya omuzze gw'okwetundako ettaka.
Moses Lutaaya yasikidde omugenzi Festo Lutaaya nga lubuga we ye Ruth Balambi ate O'Brien Kiganda yasikidde Paul Kimbowa nga lubuga we ye Rahimah Najjemba.
Ye Ssembatya yategezezza nga bwatandiise okunyweza emirandira gy'Omutuba guno nga mu kiseera kino yalonze Olukiiko olugenda okutambuza obuvunanyizibwa