ALIPOOTA ya kamisona ey'enkomeredde ku ttaka erikaayanirwa munnamagye wa UPDF e Kalungu etaddewo essuubi mu batuuze ku byalo bina nti bandiwona obukenkenke bw'emmundu n'emiggo bwe bamazeemu emyaka egikunukiriza mu kkumi.
Omubaka wa Gavumenti e Kalungu Dr Paddy Kayondo yategeezezza nti entikko y'embeera eno yava ku mutuuze Thomson Kwezera Muzungu okugula ettaka erikunukiriza yiika 300 okuliraana omujaasi Noel Nuwe eyawummulira amagye ku ddaala lya Major,n'ayagala okulimusuuza ng'okozesa eryanyi.
RDC Kayondo yanyonnyodde nti Rtd. Maj.Nuwe yayiwa abasajja ab'emmundu ku kitundu ne bateeka ebyalo okuli Bukula,Kiti,Nabikakala ne Lugalama mu ggombolola y'e Bukulula ku bunkenke nga batigomya abatuuze n'abakozi ba Kwezera mu ngeri y'okubatiisa bave mu kitundu.
Yagambye nti abatuuze bano bazzenga baloopa okutulugunyizibwa kw'okukubwa emiggo, n'ebirime byabwe okwononebwa ebisolo ebiva mu ffaamu ya Maj.Nuwe.
Yayongeddeko nti abakulembeze n'abebyokwerinda mu ngeri ez'enjawulo bazze baagezaako okutuukirira munnamagye ono nti bamutabaganye ne baliraanwa be nti wabula n'abalemesa kwe kusalawo okuwandiikira abatwala eby'ettaka abokuntikko.
Kkamisona yasindise ttiimu y'abapunta ba Gavumenti ne bamala ennaku bbiri nga bakuba ettaka lino.
Alipoota eriko omukono gwa kkamisona Opio Henry Ogenyi erambika ensalo entuufu yasomeddwa Eugine Kayiwa ow'ebyettaka e Kalungu,mu lukiiko olwayitiddwa RDC Kayondo e Bukula nga lwetabiddwamu DISO w'ekitundu kino Nicholas Kajjimba ne ASP.Abaho owa Poliisi y'e Lusango etwala ebyalo bino.
Mu lukiiko abatuuze era baalajanye ku ngeri basajja ba Maj.Nuwe gye bakyagenda mu maaso n'okukuba buli gwe basanga naddala mu budde bw'ekiro ne bategeeza nti ekitundu kino kyefaananyirizaako ekiri mu kafiyu.
RDC Kayondo yennyamidde ku ngeri omuserikale w'eggwanga gy'ayisaamu baliraanwa be, wabula n'agumya abatuuze nti amateeka gagenda kutandika okumukwatako n'abantu b'atwala mu kitundu nga tebamanyiddwa bibakwatako.
Abatuuze abakulembeddwa owa LCI e Bukula John Ssegawa ne Abubaker Kayondo maneja w'erimu ku ttaka eribaddeko obuzibu bebazizza Gavumenti okuvaayo n'ebalwanirira.