Akatambi ka Sobi kaanise miisoni ya Nixon ne Minaana

EBY’OKUTEMULA eyali omuwaabi wa Gavumenti, Joan Kagezi, byongedde okulanda  bwe baggyeeyo akatambi ka Sobi akalaga engeri abatemu gye baaluka miisoni mu kkomera e Luzira.

Sobi
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EBY’OKUTEMULA eyali omuwaabi wa Gavumenti, Joan Kagezi, byongedde okulanda  bwe baggyeeyo akatambi ka Sobi akalaga engeri abatemu gye baaluka miisoni mu kkomera e Luzira.
Sobi ng’amannya ge amatuufu ye yali, Paddy Sserunjogi, baamuttira mu nkaayana za
ttaka mu December wa 2023 ku kyalo Kibaale mu ggombolola y’e  Maddu mu Gomba. Yali apangisiddwa n’ekibinja ky’abakambwe abalala okukuuma ettaka eryaliko enkaayana.
We baamuttira, yali yeewaayo mu mikono gya Gavumenti era yali akolera ekitongole kya Internal Security Organization (ISO) wansi wa Col. Frank Kaka Bagyenda.
Mu kiseera ekyo, yawa abeebyokwerinda naddala ISO obujulizi bungi ku bibinja by’abasajja ab’omutawaana be yali alinako bwino omwali ne mayinja wa poliisi, SSP Nixon Agasirwe.
Agasirwe ye yali omuduumizi w’ekitongole kya poliisi ekyali kikola ebikwekweto ekya Special Operations Unit (SOU). Ono yakwatiddwa n’asimbibwa mu kkooti ng’agattiddwa ku fayiro y’abaasooka okukwatibwa ku by’okutta Kagezi.
Agasirwe baamugasseeko Abdul Noor Ssemujju amanyiddwa ga Minaana agambibwa okuba nga naye yali mu lukwe. Minaana naye yatwaliddwa mu kkooti n’agattibwa ku fayiro y’omusango.
EBIRI MU KATAMBI KA SOBI
Okusinziira ku katambi akalabika nga baakakwatira ku kitebe kya SO e Nakasero, Sobi annyonnyola nti waliwo omusibe eyali mu kkomera e Luzira ku misango gy’okulya mu nsi olukwe (amannya gasirikiddwa) eyalina enteekateeka zonna ez’okutta Kagezi era kirowoozebwa nti ayinza okuba ye yassa ssente mu miisoni eno.
Okusinziira ku katambi, Sobi annyonnyola bambeg ’ekitongole
kino nti mu kiseera ekyo, naye yali musibe e Luzira era y’engeri gye yategeera ku miisoni y’okutemula Kagezi kuba omusibe gw’ayogerako yali mukwano gwe.
“Nze Sobi nze, omusibe oyo (ayogera amannya) nayogerako naye n’ang’amba nti yali ayagala Kagezi nga mufu era yasindise abantu bamutte,” Bw’annyuonnyola.
Agamba enfunda eziwera, yalabanga Minaana ng’agenze eLuzira okusisinkana omusibe oyo ku biragiro bya Nixon. Yagambye nti nga March 30, 2015 lwe batta
Kagezi e Kiwaatule, omusibe oyo yali avudde e Luzira era yali mu mmotoka ya Nixon. Ebigambo bya Sobi, byagala okukwatagana n’eby’omusibe Daniel Kisekka Kiwanuka  bye yayogera nti eyabawa omulimu ye Nixon era yali atambulira mu mmotoka ya Gavumenti.
Nixon ne Minaana okukwatibwa ku musang  guno, bambega ba poliisi nga bakolera wamu ne ofiisi y’omuwaabi wa Gavumenti baasinzidde ku bujulizi bwa Kisekka. Kisekka yasalirwa abalamuzi ba kkooti ewozesa emisango gy'abatujju e Kololo ekibonerezo kya myaka 35 mu nkomyo. Fayiro y’omusango gw’okutta Kagezi kati eriko abasibe mukaaga okuli Nixon, Minaana, Kisekka eyafuuse omujulizi wa gavumenti,
John Kibuuka oluusi eyeeyita Musa, John Masajjage oluusi eyeeyita Brian Mubiru ne Nasur Abudallah Mugonole.
Kiwanuka yategeeza omuwaabi wa Gavumenti omukulu, Jane Frances Abodo, nti Kibuuka ye yamugamba nti omuntu eyabapangisa okutta Kagezi ye Nixon era yali atambulira mu mmotoka ya Gavumenti. Abasibe abaasooka, fayiro yaabwe yatwalibwa mu kkooti ya International Crimes Division (ICD) e Kololo mu maaso g’abalamuzi ba
Michael Elubu, Stephen Mubiru, Dr. Winfred Nyondo Nabisinde ne Celia Nagawa