Bya Lawrence Kizito
AKALULU ka Bukedde aka Gabula Ssekukkulu, abawanguzi mwe bagenda okugabanira ebya ssava beejavaane ku lunaku olukulu, kakomekkerezebwa nkya ku Lwokusatu, era abawanguzi abasembayo lwe bagenda okulondebwa.
Abawanguzi baakulondebwa ku ssaawa 4.00 ez’oku makya, ku mpewo za Bukedde TV 1 ng’ensi yonna eraba. Abaagala okwetaba mu kalulu kano basigazzaayo lunaku lwa leero n’enkya, nga abanaakajjuza enkya balina okukaleeta ku ofiisi za Bukedde nga tezinnawera ssaawa 4.00 ez’oku makya.
Omukungaanya wa Bukedde Michael Ssebowa, yagambye nti bawanguzi abanaayitamu ku Lwokusatu, n’abo abazze bawangula baakufulumira mu lupapula lwa Bukedde ku Lwokuna, ate ku Lwokutaano nga December 22, 2023, baweebwe ebirabo byabwe bagende beejavaane.
Okwetaba mu kazannyo kano, ogula olupapula lwa Bukedde, n’ojjuza akakonge akali ku muko ogwokubiri, n’okasalamu n’okatwala ku ofiisi za Bukedde ezikuli okumpi oba ewa agenti wa Bukedde ali mu kitundu kyo. Ebya ssava byabwe baakubifunira ku ofiisi za Bukedde ezisangibwa e Lugogo mu kibangirizi kya Banamakolero, okuva ssaawa bbiri ez’okumakya.
Abawanguzi bagenda kusitukira mu bya ssava omuli enkoko okuva mu Ugachick, ennyama, omuceere gwa SWT ogusinga omutindo mu ggwanga, amata ga Royal Milk agasinga okuwooma, enkota y’ettooke gye bayita nsitulirako, butto, samuli n’obuloosa obuteeka akawoowo mu nva.
Abawanguzi abeetabye mu kazannyo kano ku bukedde TV, nabo baakulangirirwa ku Lwokusatu.