AKAKIIKO k’ebyokulonda kalagidde abavuganya ku bifo by’obwammeeya b’ebibuga ne bassentebe ba disitulikiti okwetooloola eggwanga okukoma okuyigga obululu leero (Lwakubiri) ku ssaawa 12:00 ez’olweggulo.
Balagiddwa nti tewabeerawo eyeewaggula n’akuba olukung’aana ku Lwokusatu kubanga akakiiko kagenda kumubonereza.

Loodimmeeya Lukwago aliko kati, bwe yali annyonnyola bannamawulire.
Okulonda kwa Loodi mmeeya wa Kampala ne bammeeya b’ebibuga ssaako bassentebe ba disitulikiti ne bakansala abakiika obutereevu mu nkiiko zaabwe ne bakansala abakyala ku disitulikiti be bagenda okulondebwa (Lwakuna January 22).
Akakiiko kagenda kuteekawo bbookisi ssatu okuli, okugeza eya Loodi mmeeya wa Kampala, oba ssentebe wa disitulikiti, kansala alondebwa obutereevu okutuula mu lukiiko lwa disitulikiti ne bookisi endala ya kansala omukyala atuula mu lukiiko olwo.
Omumyuka w’omwogezi w’akakiiko k’eby’okulonda, Paul Bukenya yagambye nti ebikozesebwa ku disitulikiti byatuuka dda era ku Lwokusatu abakulira akakiiko ku disitulikiti bagenda kuba battaanya ku buli kintu kyonna.

Balimwezo Bwe Yali Anoonya Akalulu
Mu Kampala ebbugumu lyasituse dda ng’enkambi essatu buli emu ewaga kuwangula kifo kya bwa loodi mmeeya.
Enkambi ya Loodi mmeeya Erias Lukwago yayungudde ttiimu kabiriiti egenda okukakuuma obutabbibwa ate aba NRM abaasimbawo Kizito Nsubuga nabo bawera nti balina obusobozi obukawangula.
Aba NUP nabo beeswanta nti ensolo nabo ku luno bagikutte ku bwoya era nti bagenda kweyambisa ababaka baabwe be balina omusanvu mu Kampala okuwangula.

Bukenya Ng'annyonnyola
Kyokka Paul Bukenya yalabudde nti okutandika ne ssaawa 1:00 okutuusa ku ssaawa 10:00 ezaakawungeezi, tebaagala bibinja mu bifo wagenda kulondera era olunaku olwo lwa kulonda wabula sirwa kweraga maanyi ku kunoonya bululu.
Yagambye nti okulonda kugenda kubeera mu disitulikiti zonna 146 ne mu bibuga byonna.