POLIISI ng’eri wamu n’amagye mu disitulikiti y’e Mayuge, ekutte abantu abawerako n’ebaggalira oluvannyuma lw’okwenyigira mu kwekalakaasa olw’ebyavudde mu kulonda kw’ababaka.
Ekikwekweto kino kyakulembeddwaamu omubaka wa gavumenti mu disitulikiti eno, Lt. Haji Ramathan Walugembe nga kyabaddewo ku Lwomukaaga.
Abaakwatiddwa kigambibwa nti baabadde beekalakaasa nga bakuba abantu, okubabba, okwokya ebintu n’okukola effujjo. Baatandise ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi era mmotoka za poliisi ne zitandika okulawuna nga zibayoola okutuusa ku ssaawa 8:00 mu ttumbi.
Walugembe yalabudde abavubuka obuteenyigira mu kwekalakaasa kubanga kimenya mateeka, n’agamba nti abeebyokwerinda baakugenda mu maaso n’ebikwekweto okukwata bonna abakola effujjo