OMUBAKA omulonde omukazi ow'ekibuga Jinja, Sarah Lwansasula yeebazizza abalonzi mu kibuga kino, abaamusobozesezza okutuuka ku buwanguzi.
Yalangiriddwa ku buwanguzi nga kati alindiridde kulayizibwa mu May w'omwaka guno. Ono yamegganye n'abalala 10.
Lwansasula yafukamidde ku maviivi ge ne yeebaza Katonda mu Lutikko y’e Bugembe.
RCC w'ekibuga Jinja, Richard Gulume yasiinzidde ku mukolo guno n’akubiriza Bannayuganda okuddayo ku mirimu gyabwe era beetegekere okulonda abakulembeze ku mutendera oguddirira ku Lwokuna nga January 22,2026.