FRANK Bulira Kabinga eyavuganyizza ku bwapulezidenti bwa Uganda mu kulonda okuwedde awakanyizza obululu obwamuweereddwa akakiiko k'ebyokulonda n’ategeeza nti kaamuwadde butono okusinzira ku bibalo ttiimu ye by’erina.
Kabinga eyavuganyirizza ku kkaadi ya Revolutionary Peoples Party (RPP) yafunye obululu 45,959 obwamutadde mu kifo eky'okutaano ku bantu munaana abaavuganyiza mu kalulu kano nga buno bwakoze ebitundu 0.41 ku buli 100.

Bulira ng'abuuza ku bamu ku bammemba b'ekibiina
" Obululu bwe bampadde si bwe bululu bwange. Ffe tubadde n'ekifo awabalibwa akalulu e Johannesburg e South Africa nga twafunye obululu 60,000," Kabinga bwe yayogedde.
Yabadde ayogera eri bannamawulire eggulo ku Mmande ku kitebe ky'ekibiina kye ekisangibwa ku luguudo lwa Apollo Nsibambi e Namirembe mu Kampala n'agamba nti obululu bwe bwagattiddwa ku bwa Mugisha Muntu owa ANT n'ekigendererwa ky'okumuwonya okuswala.
Mu bisembayo ebyalangiriddwa ku Lwomukaaga, Muntu yafunye obululu 59276 obwamuwadde ebitundu 0.53 ku 100. " Munnaabwe Muntu tebaayagadde kumuswaza ne bamuwa obululu bwaffe," Kabinga bwe yayongeddeko.
" Siri waakugenda mu kkooti. Sisobola kugenda mu kkooti za Museveni okuloopa Museveni wabula Kati tugenda kuteeka mu maaso n'enteekateeka z'okukyusa obukulembeze bwa Museveni," Kabinga bwe yagasseeko.
Ku mukolo guno, Ssaabawandiisi w'ekibiina kino, Isaac Igambi ne William Ddungu Zikuzza eyakuliramu kkampeyini ze baamukwasizza ebyavudde mu kalulu ka 2026 ebyabakwasibwa akakiiko k'ebyokulonda e Lweza ku Lwomukaaga.
Kabinga yalangiridde nti bagenda kubakana ne kaweefube w'okutalaaga eggwanga nga babulira eggwanga enjiri y'okukyusa obukulembeze bwa Uganda buddemu okutambulira ku musingi gwa Federo okutuukiriza ekirooto ky'Omuyima waabwe, Omugenzi Dr. Aggrey Kiyingi.