OMULIMU gw'okusunsulamu n'okuwandiika sitaatimenti eri abo abaakwatiddwa mu bikwekweto ebyakoleddwa mu kitundu kya Ssezzibwa, gugenda mu maaso.
Ssezzibwa, mulimu disitulikiti y'e Kayunga, Buvuma, ne Buikwe era ng'abantu 42, baayoleddwa mu kiseera ky'okulonda n'okubala obululu nga kuwedde.
Kitegeezeddwa nti abamu ku bano, baasangiddwa nga beenyigira mu kwokya ebipiira mu makubo wakati, okutuusa obuvune ku balala okwonoona ebintu, okubba n'emisango emirala.
Ensonda mu poliisi , zitegeezezza nti bagenda mu maaso n'okuggyibwako sitaatimenti n'okubasunsulamu nti n'oluvannyuma , batwalibwe mu kkooti ekiseera kyonna.