NNAABAGEREKA Sylivia Nagginda agambye nti kikulu nnyo okumanya ennimi endala kubanga kyanguwa empuliziganya n’enkola y’emirimu.
Nnaabagereka agamba nti abaana wano mu Uganda basaanye okuyambibwako bayigi ennimi enzaaliranwa, baleme kuyigirizibwa Lungereza lwokka ng’ate basobola okuyiga ennimi eziwerako.
Maama Nnaabagereaka ng'ali Nabasakaate
Bino okubyogera yabadde akyalidde abaana abali mu Kisaakaate kyaabo abali mu massomero agali ku kalenda egoberera ensoma eri ku ddala ly’ensi yonna (Kisaakaate International), ekigenda mu maaso ku Kabojja International School e Buziga mu ggombolola y’e Makindye mu Kyadondo ku Lwokubiri.
"Kirungi nnyo okuyiga olulimi olusukka ku lumu. Musomesebwa mu Lungereza era bangi wano lwemusinga okumanya naye njagala mufube muyige n'ennimi zammwe enzaliranwa. Kijja kubayamba kubanga mulina Mukwano gyammwe okuva e Sweden, Bugirimaani n'endala ng'Olungereza balusoma ng'olulimi olulala naye basoma n'okuyiga ennimi z'ensi zaabwe," Nnaabagereka bweyalambise.
Nnaabagereka yalambuziddwa ebifo eby'enjawulo ku ssomero lino okuli eky'okwewummuzaamu omuli okuwuga n'emizannyo ebirala, ekisulo, ebintu ebikoleddwa abaana bwatyo neyeebaza abakulira Essomero okukkiriza okukyaza ekisaakaate kino.
Ye Omutandiisi wa Kabojja International School era nga ye Mumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Hajj Ahmed Lwasa yeyamye okugenda mu maaso ng’akolagana n’ekitongole kya Nnaabagereka Development Foundation okutegekanga ekisaakaate kino era n’akunga amassomero gonna agali mu nsoma eno okukyetegekera buli mwaka.
"Tuli basanyufu okukolagana ne Nnaabagereka okugunjula abaana b'eggwanga. Nkubirizza amassomero agali mu nsonga eno okukiteekanga mu Pulani nti buli Mwaka mu budde buno,balina okuleeta abaana babangulwe mu Mpisa z'obuntubulamu," Hajj Lwasa bweyagambye.
Ye Minisita w’ekikula ky’abantu era nga y’avunanyizibwa ku Ofiisi ya Nnaabagereka, Coltlida Nakate Kikomeko atenderezza Maama Nnaabagereka olw’okwolesebwa kuno kwagambye nti kuyambye kinene okugunjulira Uganda abatuuze abalungi.
Fred Kabuye Kalungi, Omukungu okuva mu kitongole ekivunanyizibwa ku ddagala mu Uganda ki National Drug Authority asinzidde wano n’awa abazadde amagezi bulijjo okugoberera abaana baabwe, baleme kutwalibwa mu mizze gy’okunywa ebiragalalagala kubanga si byangu byaakuvaako.
Ekisaakaate kino kitambulira wansi w’Omulamwa ogugamba nti “ Okukwanaganya Tekinologiya n’obuwangwa’ nga kyatandise ku lwa July 03,2025 nga kyakukomekkerezebwa ku lwomukaaga luno nga July 12,2025.
Abato bano baatereddwa mu bibinja bibiri era abakulembeze baabyo baalayidde mu maaso ga Nnaabagereka.
Sonia Kawooya yalayidde okukulembera ekibinja ekiyitibwa Butikkiro nga wakumyukibwa Aggrey Wunyi ate Talitha Tyra Kasenge eyeddira Endiga ye mukulembeze wa Bulange ng'amyukibwa Patrick Mukiibi