Agambibwa okutamiira n'afumita mukazi we ekiso bamusindise Luzira

OMUSAJJA agambibwa okwesiwa amagengere n'ava mu mbeera n'akwata ekissi n'afumita mukazi we olw'okuba amugambyeko okuva mu bbaala asindikiddwa ku limanda e Luzira ku by'okutuusa obuvune obwamanyi ku muntu.

Agambibwa okutamiira n'afumita mukazi we ekiso bamusindise Luzira
By Peter Ssuuna
Journalists @New Vision
OMUSAJJA agambibwa okwesiwa amagengere n'ava mu mbeera n'akwata ekissi n'afumita mukazi we olw'okuba amugambyeko okuva mu bbaala asindikiddwa ku limanda e Luzira ku by'okutuusa obuvune obwamanyi ku muntu.
 
Charles Mwesige 40, mutuuze w'e Nakulabye IV mu Lubaga y'asimbiddwa mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo, Omulamuzi Adams Byarugaba n'amusomera ogw'okutuusa obuvune ku Night Rose Kobusinge.
 
Kigambibwa nti bano bafumbo abazze bagugulana enfunda eziwera ng'omukyala (Kobusinge) alumiriza baze olw'ettamiiro erisusse.
 
Kiteeberezebwa nti nga December 8, 2023, Kobusinge yasanga Mwesige mu bbaala emu e Nakulabye bwe yamunenyako lwaki azzeemu okunywa ate nga bakkiriziganya okuguvaako, yasalawo kuva mu mbeera n'akwata ekissi n'amufumita n'afuna ebisago ebyamanyi.
 
Kobusinge yaddukira ku Poliisi ya Kampalamukadde n'aloopa omusango ku ffayiro CRB: 2206/2023, Mwesige n'akwatibwa n'avunaanibwa omusango guno mu kkooti e Mengo.
 
Olw'okuba  yabuliddwa abamweyimirira, omulamuzi Byarugaba yamusindise ku limanda e Luzira okutuusa nga January 30, 2023 gutandike okuwulirwa.