Bya Peter Ssuuna
HUSSEIN Wamboga amanyiddwa nga Osama 20, mutuuze wa Ganda Nansana y’avunaaniddwa mu kkooti ya Nateete Rubaga e Mengo ogw’okutegeega ng’abantu ku luguudo lwa Northern Bypass e Namungoona n’abanyakulako amasimu ate n’abakuba okubatusaako obuvune.
Kigambibwa nti Wamboga n’abalala abatannakwatibwa mu kiro kya nga December 21, 2022 e Namungoona yategeega Harriet Debra Nantaba n’amubbako akasawo k’omungalo nga mulimu essimu, Umbrella, ATM n'essente enkalu emitwalo 15, nga byonna bibalirirwamu emitwalo 590,000 nga bwe baamala okubba baamutulugunya eby'ensusso.
Ono era ku lunaku olwo banyaga Fahad Muhoozi Kagame essimu ye ekika kya Sumsang ebalirirwamu akakadde kamu n'emitwalo 70, oluvannyuma baamukuba ne bamutusaako obuvune obwamanyi.
Emisango gyonna Hussein yagyegaanyi wabula David Lukwago omuwaabi wa Gavumenti yategeezezza nti okunoonyereza ku kyagenda mu maaso n'asaba kkooki eyongezeeyo omusango lwe gunaawulirwa.
Olw'okuba teyabadde na bamweyimirira, omulamuzi Amon Mugezi yamusindise ku limanda e Luzira okutuusa nga March 16, 2023 gutandike okuwulirwa