Agambibwa okukulira akabinja ka bayeekera alumirizza bambega b'ekitongole kya CMI okumukuba n’okumutulugunya ne bamukaka okuteeka omukono ku sitetimenti.
Ndugwa Yeeyambudde Okulaga Kkooti Ekyamutuukako.
David Frank Ndugwa Ssemwogerere yabadde mu kkooti ya magye n’agamba nti bwe yakwatibwa mu September 2022 e Kenya, yaleetebwa mu Uganda n’atwalibwa ku CMI gye yayita mu kutulugunyzibwa okwa buli kika.
Ndugwa yabadde akulembeddwa looya we, Capt. Simon Nsubuga Busagwa n’abuulira kkooti nti ng’atuusiddwa ku CMI bambega nga bakozesa waya za masannyalaze, n’ebintu ebirala baamukuba nga bamugamba akkirizze nti muyeekera.
Ono ye yambudde essaati nga bw’agenda mu mmeeza za bakulu okubalaga enkovu z'ebiwundu ebyamutuusibwako . Kyokka bwe bamugambye nti enkovu nkadde nnyo teziyinza kubeera za mwaka guwedde n’agamba nti CMI yamuwa obujjanjabi obwamanyi n’awona mangu.
Abamu Ku Bawawaabirwa Abalala.
Ndugwa yagambye nti e Kenya yakwatibwa ne Polof Daniel Mazinga Jjuuko ne Frank Mulera eyali mukwano gwe nga mulamu era ng’ayogera bulungi.
Yayongeddeko nti omusajja eyalaga nti muyigirize bulungi era ategeera ky’akola yakkiriza ebikolwa bye byonna n’abyenenya mu maaso ge.
Bino byonna Ndugwa yabiwakanyizza n’agamba baamukaka akkirize era baali bamusonzeemu pisito ne bagamba akole n’eddaame bw’agaana waakuttibwa. Bw’atyo yassaako omukono era nga tawandiika bulungi olw’obulumi n'okutya.
Oludda oluwaabi lugamba nti wakati wa November ne December 2021 mu bitundu bya Wakiso, Mityana , Kassanda ne Kiboga Ndugwa ne banne nga beegattira mu kabinja akamanyiddwa nga Uganda National Coalition Forces for Change, baatendeka abantu okwenyigira mu bikolwa eby’ekiyeekera.
Bano era bavunaanibwa okutta Abaserikale okuli Cpl Alfred Okech , PC Moses Kigongo, SPC Paul Ddimba ne Cpl Francis Nsubuga. Bano battibwa mu December 2021 era abatemu ne bakuulita n'emmundu zaabwe ssaako amasasi.
Oludda oluwaabi lugamba nti oluvannyuma lw'okukola obutemu buno, abawawaabirwa baalina emmundu nnamba UG POL 563625093-23 egambibwa nti ya bamukwatammundu aba UPDF.
Kigambibwa nti bano babba mmundu AK-47 83LC7227-1372 eya Okech ssaako amasasi agakola obulungi 30. Ku lunaku olwo nga December 7, 2021 era babba emmundu nnamba UG-POL 56-5900813-36 ey’omuserikale Moses Kigongo n’amasasi 30.
Bazziddwa mu kkomera okutuusa nga May 9, 2023 lwe banadda oludda oluwaabi luwumbewumbe ku nsonga eyo