Omu ku bagambibwa okuba omubbi, akubiddwa amasasi agamusse ate munne, poliisi n'emukwata.
Kidiridde ababbi ab'emmundu okulumba mobile money okumpi ne Access building e Kitintale mu Kampala, wakati mu kutiisatiisa abakolamu ne babba ssente.
Kigambibwa nti basobodde okupakira ssente ne babulawo ne bodaboda, nti kyokka ne batemya ku poliisi ebagobye nga bali wamu ne n'aba bodaboda.
Omu ku bbo Farouk Matovu akwatiddwa, omulala n'adduka nga bw'awandagaza amasasi mu bbanga kyokka omu kuba UPDF abadde akuuma amaka agamu e Bugoloobi, n'amukuba amasasi agamusse.
Emmundu egambibwa okukozesebwa ne magaziini bbiri, ezuuliddwa era ng'okunoonyereza, kukolebwa