Bannabyabufuzi e Kamuli baweereddwa ekiragiro

ABEBYOKWERINDA e Kamuli, balagidde Bannabyabufuzi ,okutambula n'emmotoka ezitasukka Ssatu mu kampeyini zaabwe.

Bannabyabufuzi e Kamuli baweereddwa ekiragiro
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

ABEBYOKWERINDA e Kamuli, balagidde Bannabyabufuzi ,okutambula n'emmotoka ezitasukka Ssatu mu kampeyini zaabwe.

Mu ngeri y'emu era , abesimbyewo, ba balagidde okukomya kampeyini zaabwe ku ssaawa Kkumi na bbiri akawungeezi, okwewala ebiyinza okuddirira.

Kidiridde ebikolwa ebyefujjo omuli okukuba n'okulumya abantu abasoba mu Mukaaga, okwonoona emmotoka ezisoba mu Ttaano, n'okuwanyisiganya ebisongovu ebibadde,birabikira mu nkungaana z'abamu ku besimbyewo.

Olukiiko olwatudde nga lukubirizibwa omubaka wa pulezidenti mu kitundu ekyo era nga lwetabiddwamu RPC , DISO, DPC n'abesimbyewo okuvuganya mu kamyufu ka NRM , abavuganya, babalagidde okukoma ku bawagizi baabwe okwewala ebikolwa ebyefujjo., n'okwewala olulumi olusomooza, oluvvoola n'okuwemula.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga North Micheal Kasadha, agambye nti abo bonna abanaalemwa okussa mu nkoola ebiragiro ebissiddwawo, bakukwatibwa, bavunaanibwe mu mbuga z'amateeka.