Ab'essazza ekkulu erya Kampala banoonya obuwumbi okukuza ebikujjuko eby'emyaka 100

NGA BETEGEKERA ebijaguzo by'okuweza emyaka 100, Abessaza ekkulu erya Kampala, banoonya ensimbi obuwumbi bubiri n'obukadde bina, okulongoosa n'okutereeza Eklezia y'e Rubaga etuukane n'omulembe.

Team okuva e Lubaga nga bali wamu n'abakungu okuva mu Vision Group
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

NGA BETEGEKERA ebijaguzo by'okuweza emyaka 100, Abessaza ekkulu erya Kampala, banoonya ensimbi obuwumbi bubiri n'obukadde bina, okulongoosa n'okutereeza Eklezia y'e Rubaga etuukane n'omulembe.

Omulimu gw'okuyooyoota n'okutereeza Eklezia eno ng'eweza emyaka 100, guwomeddwamu omutwe olukiiko olukulirwa omugagga Freeman Kiyimba era ng'etikko y'ebijaguzo bino , egenda kubaawo nga October 26 , mu kifo ekyo e Rubaga mu Kampala.

Mu bye basuubira okukola, mwe muli okuyooyoota n'okukyusa dizayini y'Eklezia eno, oluggya lwayo, ekifo awasimbibwa emmotoka nga kyakufuulibwa kya myaliiro ebiri , waggulu ne wansi ng'emmotoka  zisimbayo.

Leero, ttiimu ng'ekulembeddwamu Msgr Dr. Lawrence Semusu, Fr. Joseph Mukiibi n'omugagga Freeman , bakyaliddeko akulira kampuni ya Vision Group, Don Wannyama , ne bamuleetera obubaka okuva ewa Ssabasumba w'essaza lino Paul Semwogerere.

Mu bubaka buno, nga basaba, kampuni ya Vision Group, eyambeko okuduukirira n'okuwagira enteekateeka eno , abantu ab'enjawulo, basobole okugimanya.

Freeman Don Wannyama, yeyamye nti ng'ali wamu ne ttiimu ye, bakuyamba okulaba ng'enteekateeka eno ebunyisibwa eri abantu abalala nga beyambisa emikutu gyonna egya Vision Group.