Abakristu okuva mubitundu bya Uganda eby’enjawulo baakungaanidde mu kigo kya Yoanna Batista Omutuukirivu eky’e Mapeera-Nabulagala, mu Gombolola y’e Lubaga, okukuza emyaka 146 bukya Mmisa embereberye esomwa mu Uganda.
Abaana nga bazze mu bikujjuko
Omukolo gw’abaddewo ku Lwakusatu nga June 25, 2025. Missa yakulembeddwa Viika Genero w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Msgr. Gerald Kalumba ng’ali wamu n’Abasaserdooti abalala, okw’abadde Msgr. Lawrence Ssemusu, Msgr John Baptist Ssebayigga, Fr Dr Ambrose Bwangatto, Fr Joseph Zunguluka wa Zunguluka (Bwanamukulu w’e Nabulagala), ne Fr Richard Nnyombi (ow’ekibiina ky’Abaminsane ba White Fathers).
Okusinziira ku biwandiko bya Klezia Katolika, Abaminsane ababereberye, Fr Simeon Lourdel Mapeera ne Bro. Delmas Amans (ab’ekibiina kya White Fathers) bwebatuuka kuno nga February 17, 1879, baamala emyezi 4 ngatebasoma mmisa kubanga ebikozesebwa byonna, okugeza alutaari, Ostia n’Evviini, baali babirese mabega, mu Tanzania.
Bannaabwe bebaali balese emabega, okwali Msgr Leon Livinhac (oluvannyuma eyafuuka Omwepiskoopi), Pere Ludovic Girault ne Pere Leon Barbot, baamala kutuuka n’ebintu ebyo, mmisa embereberye n’eryoka esomebwa e Nabulagala-Lubya (awali ekigo ky’e Nabulagala) nga June 25, 1879. Msgr Livinhac y’eyakulemberamu mmisa eno, kuba y’eyali omukulu wa banne.
Abaana nga bali mu bikujjuko
Mukuyigirizaakwe, Msgr. Kalumba y’atenderezza Abaminsane ababereberye, Fr Simeon Lourdel Mapeera ne Bro. Delmas Amans, abaleeta kuno eddiini Katolika mu 1879, n’asaba Abakristu babasabire nnyo nabo balangibwe mu lubu lw’Abesiimi, ate oluvannyuma olw’Abatuukirivu.
Abakristu era y’abasabye bettanire nnyo okufuna Ukaristia, wewaawo nga bangi balina ebizibu, ebibaziyiza okusembera ku mmeeza y’Omukama, okusingira ddala eky’okubeera mubufumbo obwensonga,
Y’anenyezza Abakristu abamu abaterebuka ngabafunye ebizibu, olumu nebatuuka n’okugenda ku ndagu. Y’akkaatirizza nti Yezu eyetambira mu Ukaristia, yekka y’alina amaanyi agawanguza ebizibu, era agazzaanu essuubi, bw’atyo n’asaba Abakristu gwebaba banywererako.
Abaana basanyusa abagenyi
Omukolo guno gw’akuliddwa aba dinale y’e Nakulabye, era nga kkwaya y’ekigo ky’e Bwayiise yeyakulembeddemu Abakristu mukuyimba.
Mu mmisa eno, abaana 264 baaweereddwa Komunio embereberye. Ate ng’omukolo guwedde, bonna baagabuddwa ekijjulo.
Ng’ojjeeko ekitambiro kya mmisa ekyabadde ekinyuvu ennyo, abalamazi era baafunye okusanyusibwa kkwaya z’abayizi okuva mu masomero ag’enjawulo, omw’abadde St. Lucia Hill School Namagoma, ne Emmanuel College Kazo