Abazigu abatannategeerekeka basse owa Mobile Money

Abazigu abatannategeerekeka basse owa Mobile Money

Omuwala eyattiddwa
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

Abazigu abatannamanyika bafumbikirizza abakozi ba mobile money babiri ne babafumita ebiso omu n'afiirawo. 

Kigambibwa nti bakuuliise ne ssente ezitannamanyika muwendo omulala ne bamuleka n'ebiwundu ebyamaanyi. 

Bibadde ku dduuka nnamba K- 618 ku Nkuruma Rd mu Kampala ku ssaawa ng'emu n'eddakiiko abiri ekiro ekikeesezza leero. 

Attiddwa ye Sophia Nakiwolo 28 ate munne Elizah Nickson n'afuna ebisago kyokka poliisi n'emwanguya okumujja ku basuubuzi ababadde baagala okumukuba nga bamuteebereza okubeera mu lukwe luno. 

Mu kiseera kino atwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago gyali mu kufuna obujanjabi naye ng'akuumibwa abasirikale okusobola okubaako by'annyonnyola. 

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Oweyesigyire, agambye nti ekissi ekikozeseddwa mu ttemu, kizuuliddwa okunoonyereza kugenda mu maaso.