Abavubuka 11,896 be basunsuddwamu okuyingira Poliisi

ABAVUBUKA 11,896 be basunsuddwamu mu kutendekebwa okuyingira poliisi ku abo abasoba mu 40,000. abaali baasaba..

Abavubuka 11,896 be basunsuddwamu okuyingira Poliisi
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

ABAVUBUKA 11,896 be basunsuddwamu mu kutendekebwa okuyingira poliisi ku abo abasoba mu 40,000. abaali baasaba

Mu kusooka , abawera 17,174 be basunsuddwamu kyokka oluvannyuma 11,869 ne babeera bawanguzi okugenda okutendekebwa nga July 7 mu matendekero ga poliisi ag'enjawulo.

Bagenda kubatendekera ku PTS e Kabalye e Masindi, abalala bakugenda Olirimu police training school e Katakwi, n'abandi bagenda Ekafe police training school e Yumbe era nga babalagidde okugenda n'ebintu ebiri ku lukalala.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, agambye nti , wadde bamaze okunsunsulamu abo, nti naye oyo yenna anakwatibwa n'ebiwandiiko nga bijingirire, wakukwasibwa poliisi eri okumpi avunaanibwe.

Abasabye okugenda ku poliisi ez'enjawulo mu bitundu byabwe, bekaanye ku nkalala z'amannya agassiddwako nti basobole okwetegeka nga bukyali.