Akulira eddwaliro lya Mukono General Hospital, Dr. Geoffrey Kasirye awanjagidde gavumenti ebayambe ku bikozesebwa olw’omuwendo gw’abalwadde abajjanjabirwa ku ddwaliro lino abava mu bitundu by’eggwanga lino eby’enjawulo okweyongera.
Kasirye annyonnyodde ng’eddwaliro lino bwe lijjanjaba abalwadde abasoba mu 900 omwezi omuli abalina endwadde ez’enjawulo, ababeera bafunye obubenje nga kw’ogasse n’abazaala wabula ng’ebikozesebwa omuli eddagala, ebitanda, emifaliso kwe beebaka n’ebirala eby’enjawulo bya kkekkwa ekintu ekikaluubiriza empeereza yaabwe.
Kasirye wano w’asinzidde n’asaba minisitule y’eby’obulamu okulaba ng’ebakolera ne ku kizibu ky’ebizimbe ebitono ennyo bye balina nga mu kiseera kino abalwadde beebaka mu bisiikirize bya miti abasawo gye babasanga okubakolako olw’okubulwa we babateeka.
Ayongeddeko nti n’abalwadde abamu bagabana ekitanda kimu abasawo kwe babajjanjabira ekitali kirungi.
Omusumba Samuel Lwandasa ow’ekkanisa ya Mt Lebanon Church akalaatidde bannauganda okwagala eggwanga lyabwe nga bawaayo n’okudduukirira ebitongole bya gavumenti, nga bino n’ebyetaago, baleme okulindiriranga gavumenti.
Okwogera bino asinzidde ku ddwaliro lino bw’abadde akulembeddemu tiimu y’abasumba okuva e buyindi okuwaayo emifaliso egisobye mu 50 egy’abalwadde.