Nga omukulembeze we ggwanga kyajje amale okusunsulwa olunaku lw'eggulo abatwaala ebyokwerinda mu bende bendo lye Teso nga bali wamu ne bannakisinde kya YK Mwooyo gwa ggwanga basisinkanye banakibiina abagenda okukola ogw'okukuuma akalulu ku buli polling station n'ekigendererwa ekyokulaba nga beewala obutabanguko mu kukuba kakuyege awamu n'okulonda.
Aba YK Mwoyo gwa ggwanga nga bali mu nsisinkano
SOROTI/KUUMI
Bannakisinde kya YK mwoyo gwa ggwanga basisinkanye abatwala ebyokwerinda mu bende bendo lye Teeso okusalira awamu amagezi ku butya webagenda okwewala emivuyo egyetobeka mu kulonda.
Mukaweefube bannakisinde kya YK gwebalimu Ow'okutalaga eggwanga lyona nga basomesa abantu abengyawulo butya webagenda okukuuma akalulu okwewala emivuyo nga basokedde kikitebe kya district ye Soroti mwebegatiddwako RCC wekitundu kkino Blessing Kwanjiko awamu n'abatwala eby'okwerinda balambise ebimu kwebyo ebitekeddwako essiri okulaba nga bamalawo obutabanguko mu kulonda.
Okusinziira ku mwogezi w'ekisinde kino Tarik Nkata agamba nti ensonga lwaki bavuddeyo okusomesa abantu nga okulonda tekunatuuka kwekulaba nga bannayuganda tebatiisibwa tiisibwa,okukuuma akalulu okuviira ddala ku wansi ku byaalo awatali kiba bululu.
Aba YK mwoyo gw'aggwanga nga bali mu bitundu bye Teeso
Bannakisinde kya YK kkino beyongeddeyo ku kitebe kya district ye Kuumi nga eno basisinkanye ba mobilaza be kibiina okuva mu district 5 nebasomesebwa ssentebe we kibiina kkino Nuhu Yowabu kwebyo ebirina okukolebwa nga okulonda kutuuse.
Maxi Muhe nga ono ya myuuka RCC we Soroti agamba nti ebuseera bingi abantu bangi bonoona obululu olwokubulwa okumanyisibwa kubutya omuntu walinda okusa omukono ku kinkumu nga amali4iza okulonfa kito nekitta akalulu.
Yebaziza banakisinde okuvaayo nomulamwa ogutwaala ekibiina mu maaso era bwebatyo nebayama okukolagana awamu okulaba nga okulonda kugwa bulungi.
Bo banakiina barayidde okufafagana nabantu ababeyambisa okufunamu ebigendererwa byabwe era nebategeza nga ssibakukuliza mulundi guno kukozesebwa bananfuusi.