BANNAMATEEKA ba Dr. Dennis Daniel Ssemugenyi bataddeyo okwemulugunya mu kakiiko k’ebyokulonda nga basaba basibwe ku lukalala lwabavuganya ku bwapulezidenti bw’eggwanga mu kwewandiisa okwagaddewo ku Lwokusatu.
Abawagizi ba Dr. Ssemugenyi baagenze ku kitebe ky'akakiiko nga bakutte ebipande n’empapula okuli emikono ne beecwacwana n’okuyomba nti abakungu b'akakiiko baabaggyemu mu bukyamu ate nga buli kimu baakituukiriza.
Balaze ebbaluwa eriko omukono gw'abakungu b'akakiiko k’ebyokulonda nga ebakakasa nti emikono bagiwaddeyo era balindirire kwewandiisa. Wabula mu ssaawa esembayo baabategeezezza nti ku mikono gyonna gye baakung'aanyizza , bakakasizzaako gya disitulikiti nnya zokka ekyabatabudde.
Abawagizi ba Dr Ssemugenyi nga balaga obutali bumativi
Dr. Ssemugenyi yategeezezza nti abantu be baakung'aanya emikono okuva mu disitulikiti ezisoba mu 120 akakiiko ne kabakakasa nti baggyemu emikono gya disitulikiti 99 eziraga nti ziyiseewo . Kyokka ku ssaawa envannyuma , baabawadde lipooti okuva mu kakiiko kano nti nga teriiko mukono gwa ssentebe ng'ebalaga nti balinako emikono emituufu gya disitulikiti nnya zokka.
Kino kyatabudde munnamateeka Francis Harrinomugisho n'abaga ekiwandiiko ky'akwasizza bannamateeka b'akakiiko nga yeemulugunya nti bye baamuwadde tabimatidde ku lw’omuntu we Dr. Ssemugenyi. Ekiwndiiko era baakiwadde n'atwala ekitongole kya bannamateeka mu kakiiko gwe baasabye babagatte ku bavuganya oba i kyo bagenda kubakuba mu kkooti baliyirirwe.
“Ebbaluwa gye baatuwa ku mikono yalaga nti buli kimu kiwedde. Bayinza batya ate okugaana okutuwandiisa? . Twakozesa ssente ezisoba mu bukadde butaamu mu buli disitulikiti ezisoba mu 120 okuyigga emikono era bwe batatukkiriza twagala batuliyirire,” looya Francis bwe yalabudde.
Wabula akakiiko k’ebyokulonda kaategeezezza nti kaateekawo amakubo mu mateeka agayitibwaamu omuntu okwemulugunya mu butongole n'afuna obwenkanya era bannamateeka baabwe bagenda kutunula mu nsonga za Dr. Ssemugenyi .
Harrinomugisho yasabye abawagizi abaabadde bakutte ebipande bya Dr. Ssemugenyi babeere bakakkamu nti bagenda kufuna obwenkanya kubanga akakiiko kagoberera mateeka era buli ekikolebwa kirina akawaayiro mu tteeka akagobererwa.
Dr Ssemugenyi
Wabula Ssemugenyi yagambye nti amateeka gamukkiriza okuteekebwa ku lukalala lw'abavuganya wadde ennaku ziyiseewo kubanga akakasa nti yabadde nsobi eyakoleddwa abakungu b'akakiiko .
“Buli kye bandagira nakikola mu budde era n’emikono egyali gisigaddeyo naddayo ne ngibawa kati bayinza batya okukola ebintu ng'ebyo?” Ssemugenyi bwe yagambye.
Dr. Ssemugenyi y'omu ku Bannayuganda ababeera ebweru w’eggwanga abadde yalagira bannamateeka be ne bamuggyirayo empapula z’okuvuganya ku lulwe. Azze yeenyigira mu kutunda ekifaananyi ky’eggwanga mu nsi z'Abazungu era gye buvuddeko yawangula engule y’ensi yonna eyitibwa Global Recognition Award olwokuba n’ebirowoozo ebiyamba okukyusa obulamu bw'abantu mu by’enfuna.
Kyokka abadde nnyo mu mawulire nga yeekokkola ekibbattaka mu ggwanga olw’engeri abantu gye baakyusa ebyapa mu nnyumba ze musanvu era n’ekisera kino alwana kubinunula. Ku by'okulonda abawagizi be baagenze ne beekalakaasiza ku kitebe ky'akakiiko k’ebyokulonda nga basaba omuntu waabwe awulirizibwe.