Ab'e Portbell - Luzira bawakanyizza ekya UETCL okubasengula nga tebaliyiriddwa

Abatuuze b’oku mwalo gwe Portbell e Luzira bawakanyiza ekitongole eky’amasannyalaze ekya Uganda Electricity Transmision Communication UETCL okwagala okubasengula nga temaze kubaliyirira ate nga baabagaana n’okubeerako kye bakolera ku ttaka lino.

Ab'e Portbell - Luzira bawakanyizza ekya UETCL okubasengula nga tebaliyiriddwa
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Bya Edward Luyimbaazi ne Sharon Nabasirye

Bino bibade mu bbaluwa gye baakwasizza Kansala w’omuluka gwe Luzira III, Willy Turinawe nga beemulugunya ku kitongole ekitambuza amasannyalaze ekya UETCL okugenda mu kitundu kyabwe mu mwaka gwa 2010 ne babalirira ebintu byabwe kyokka ne balemwa okutuukiriza endagaano zaabwe.

Port 3

Port 3

Peter Kyeyune eyakulembeddemu abatuuze bano yagambye nti bwe bamala okubalirira ebibanja byabwe ne bakkiriziganya emiwendo gya ssente ezinaabaweebwa ne babayimiriza n’okuddamu okukoleramu kye bakkiriza.

Kyokka okuva ku ndagaano eyakolebwa, baagaana okubasasula ng’ate ne ssente ze baabalirira ebiseera ebyo ntono nnyo okusinziira ku mbeera eriwo kati.

Port 4

Port 4

Agambye kati baasazeewo ensonga zino okuzikwasa Kansala waabwe Turinawe, ssinga zimulemerera baakuzongeraayo okutuuka ew’omubaka waabwe owa Nakawa East Ronald Balimwezo.  

Pamela Byoruganda omwogezi w’ekitongole kya UETCL yagambye nti Ssaababalirizi wa gavumenti yabalagira okuddamu okubalirira abantu bonna ewagenda okuyita amasannyalaze n’abasaba okuba abagumiikiriza kubanga omuggalo gwe gubadde gubasibye.