Bya Edward Luyimbaazi ne Sharon Nabasirye
Bino bibade mu bbaluwa gye baakwasizza Kansala w’omuluka gwe Luzira III, Willy Turinawe nga beemulugunya ku kitongole ekitambuza amasannyalaze ekya UETCL okugenda mu kitundu kyabwe mu mwaka gwa 2010 ne babalirira ebintu byabwe kyokka ne balemwa okutuukiriza endagaano zaabwe.
Port 3
Peter Kyeyune eyakulembeddemu abatuuze bano yagambye nti bwe bamala okubalirira ebibanja byabwe ne bakkiriziganya emiwendo gya ssente ezinaabaweebwa ne babayimiriza n’okuddamu okukoleramu kye bakkiriza.
Kyokka okuva ku ndagaano eyakolebwa, baagaana okubasasula ng’ate ne ssente ze baabalirira ebiseera ebyo ntono nnyo okusinziira ku mbeera eriwo kati.
Port 4
Agambye kati baasazeewo ensonga zino okuzikwasa Kansala waabwe Turinawe, ssinga zimulemerera baakuzongeraayo okutuuka ew’omubaka waabwe owa Nakawa East Ronald Balimwezo.
Pamela Byoruganda omwogezi w’ekitongole kya UETCL yagambye nti Ssaababalirizi wa gavumenti yabalagira okuddamu okubalirira abantu bonna ewagenda okuyita amasannyalaze n’abasaba okuba abagumiikiriza kubanga omuggalo gwe gubadde gubasibye.