ABATUUZE mu ggombolola ye Masuliita e Wakiso balaajana lw’abakozi ba Gavumenti abavunanyizibwa ku by’amazzi okubagerekera ebisale ebisusse ku mazzi Gavumenti geyabasembereza mukitundu kyabwe
Baaategezezza nti baali baafuna essanyu olw’eyaliko Minisita w’akanyigo k’e Luweero Dennis Galabuzi Ssozi bweyabasakira amazzi okuva mu Gavumenti nagasembeza mukitundu kyabwe kyokka ate gye baakoma okusanyuka ate gye bakomye okwennyika mumitima.
Swaleh Kimuli om uku baasaba okumusembereza amazzi mumak age yagambye nti amazzi baabasaba nga emitwalo 30 ku 40 okugabasembereza mumaka gaabwe, kyokka okuva lwe yasasula, mumwezi abadde taweza mirundi 3 nga kwegali.
“Amazzi tumala omwezi nga tetugafunye nga bwetwasubizibwa, ate abakozi ba Gavumenti twekanga kubalaba na mpapula za bill nga balaga batubanja, netwebuuza ssente ezo zebabanja zivudde wan ga tetugakozesezza.” Kimuli bweyayongeddeko.
Yagambye nti olw’okuba abantu bangi baali bagala amazzi, abakozi Gavumenti abakola ku by’amazzi baagufuula mugano nga buli muntu bamujjako ssente zize okumusembereza amazzi kyokka abamu nebatagafuna ate abalala nebagabaremerera olw’obukwakkulizo obugaliko.
Ye Specioza Namutebi agamba nti amaze emyezi 2 nga takyakozesa mazzi gano naye nti kyewunyisa ate abakola ku by’amazzi okumugamba nti metre ye ebanjibwa bill y’amazzi g’abadde akozesa, ekintu ekyamwewunyisizza.
Yagambye nti okuva lweyalaba emivuyi egiri mu mazzi gano, yasalawo kugavaako naddukira ku mazzi ga ttanka nga kati zakozesa okwewala okusasulira amazzi ga taapu ate gatakozesezza.
Nnabakyala w’ekyalo asuliita, Miria Nankya alojja engeri ab’amazzi gye bababinikamu ssente kyokka ng’amazzi ga Gavumenti era nga yagatekawo kuyamba bantu mukitundu abatalina webagajja.
Yagambye nti yali asuubira nti amazzi gano ganeda kuba nga aga nayikonto nga buli mwezi basasulayo akassente akatonotono akataweza nkumi ttano, nti kyokka ssente ezmitwalo 15 ku 20 ezibasabibwa nti za bill kibewunyisa.
Ye ssentebe wa NRM e Masuliita Salongo Muwada Namwanja obuzibu abutadde kubakozi ba Gavumenti ku disitulikiti abatafuddeyo kulondoola pulojekiti za Gavumenti zewadde bantu okumanya bwezitambula.
Muwada agamba nti Gavumenti efubye okuterawo abantu pulojekiti ezikulakulanya omuli neeno ey’amazzi, kyokka bebazikwasa bakola bye baagala olwo abalina obuvunanyizibwa obulondoola nebatafaayo kyokka nga waliwo ebikyamu ebikolebwa.
Akutidde abantu okwegendereza bebalonda babakikirire kuba omubaka eyabalwanirira okufuna amazzi bamusuula mukulonda okuwedde nebalonda abakulembezze abatafuddeyo kumanya bizibu biri mubitundu ekiviriddeko abatuuze okukaaba n’okwevuma Gavumenti nga bwetebayambye.
Ronald Kauka akola ku ofiisi z’amazzi e Masuliita yagambye nti abantu abasinga balekako metre zaabwe nga bwebalinda okulaba oba amazzi gaddako, ekibavirako ate oluusi metre okubala nga tebamanyi.
“Sikugamba nti tubinika abantu bill ez’enjawulo, kuba abanytu baffe basasula enkumi ssatu, ttaano nabalala emitwalo 10 okusinziira bwebakozesezza amazzi, naye abasinga balekako metre zaabwe ekibaretera okwebala omufuulo.” Kauka bweyayongeddeko.
Yagambye nti emabegako baalina ekizibu ky’amazzi okuvaako olw’ensonga nti waliwo ekkubo disitulikti lyeyali ekola nesala payipu zaabwe kyokka nti kinop kyaterezebwa era buli ayagala okusaba amazzi waddembe okubatikirira.
Comments
No Comment