KYADDAAKI amagye ga UPDF gawadde Lukaya Town Council ettaka eriwerako yiika 115 ekitadde akaseko ku matama g'abatuuze abasoba mu 100 abaali baagobwako nga bataddeko n'ebizimbe.
Ettaka lino erisangibwa mu kitundu ekimanyiddwa nga Bulakati,kyali kisaawe kya nnyonyi z'amagye ku mulembe gwa Idi Amin nga batendekerewo abajaasi ababuuka mu nnyonyi ennwaanyi nga beeyambisa Palacuuti,okutuusa lwe kyalekebwawo okumala ebbanga ne kiwawaliriza Town Council okukyeddiza.
Mu mwaka gwa 2008 Town Council yatandika okuguza abatuuze poloti ku ttaka lino ekyatanula abakulu mu magye ne bayimiriza buli ekyali kikolebwako era abatuuze ne basigala mu kusoberwa kye bazzaako nga wateereddwawo n'engeri y'enkambi y'amagye agalikuuma.
Embeera yeeyongera okubijja amagye bwe gaaziba amakubo gonna agaali gayita mu ttaka lino okuyunga Lukaya ku byalo okuli Lusango, Lubumba, Kalungi n'ebirala, ekyasannyalaza emirimo mu katale ka Gavumenti nako akazimbibwa ku ttaka lino olw'abaguzi abava mu bitundu bino okubulwa ekkubo ery'amangu we bayita n'okufuna obujjanjabi ku ddwaliro lya Lukaya Health Centre III nalyo eryazimbibwa ku ttaka lino ne kifuuka kizibu.
Bino bye bimu ku byawaliriza Minisita w'ebyokwerinda n'abaazirwanako Vincent Ssempijja okutandika kaweefube w'okuteesa n'abavunaanyizibwa ku by'ettaka mu magye era gye byaggweredde oluvannyuma lw'ebbanga baatuuse ku nzikiriziganya.

Ba Minisita Gen. Katumba Wamala, Ssempijja Emabega Ne Charles Tamale Meeya Wa Lukaya N'abalala Nga Balambula Ekimu Ku Bitundu By'ettaka Eryaddiziddwa Abatuuze
Ltd. Gen. Joram Mugume akulira eby'ettaka mu UPDF ne Brigedier Deus Sande aduuumira enkambi y'e Kasijjagirwa, ku mukolo guno baagumizza abatuuze nti kati ettaka lizziddwa mu mikono gya Lukaya Town Council ne batendereza Minisita Ssempijja engeri gye yakuttemu ensonga eno n'obukakkamu.
Minisita Ssempijja yategeezezza nti waliwo enteekateeka y'okufuna bamusigansimbi bazimbe amakolero ku kitundu kino abatuuze bafune emirimo nti wabula kino kya kujja oluvannyuma lw'okuggyako ery'abatuuze, ekisaawe ky'omupiira, poliisi, kkooti, akatale, eddwaliro n'ebirala ebinaaleeta enkulaakulana mu kitundu.
Minisita w'entambula n'emirimo Gen. Edward Katumba Wamala naye eyabadde ku mukolo guno yalabudde abakulu mu kanso obutakemebwa kwegabanya ttaka lino kubanga bagenda kubateekako eriiso ejjogi.
Meeya wa Lukaya Town Charles Tamale ne Town Clerk Ann Mildred Nalulyo basabye abatuuze abalina poloti ku ttaka lino batwale lisiiti zaabwe kwe baagulira, enteekateeka z'okubafunira ebyapa zitandike bunnambiro.