Okusaala Idd e Kalungu ; "Obumu bwe bugenda okulwanyisa okweyawulamu"

Ssentebe wa disitulikiti eno, Ahmed Nyombi Mukiibi y’omu ku bakkiriza abeetabye mu kusaala kuno n'asaba abantu okubeera abeegendereza ku bakulembeze abatakoledde bitundu byabwe.

Okusaala Idd e Kalungu ; "Obumu bwe bugenda okulwanyisa okweyawulamu"
By John Bosco Sseruwu
Journalists @New Vision
#Kusaala #Idd #Kweyawulamu #Kwesalamu #Eid ul fitr #Basiraamu #Uganda Kusaala

Okusaala Idd e Kalungu

E Kalungu ku muzikiti gwa Mariam mu Lukaya Town Council okusaala kukulembeddwa Imam waagwo, Sheikh Muniru Ssebagala asabye Abasiraamu okwongera okubeera obumu basobole okulwanyisa ebibaawulayawulamu.

Amyuka Rdc E Kalungu Abdul Bbaale Mayanja Ng'ayogera.

Amyuka Rdc E Kalungu Abdul Bbaale Mayanja Ng'ayogera.

Ssentebe wa disitulikiti eno, Ahmed Nyombi Mukiibi y’omu ku bakkiriza abeetabye mu kusaala kuno n'asaba abantu okubeera abeegendereza ku bakulembeze abatakoledde bitundu byabwe.

Amyuka RDC mu kitundu kino, Abdul Bbaale Mayanja ategeezezza nti Uganda ejjudde eddembe n'obutenkevu obutafaanako n'ezimu ku nsi ezituliraanye n'asaba abantu okweyambisa embeera eno nti bakole beggye mu bwavu naddala nga beeyambisa enteekateeka Gavumenti ze yateekawo.