Abasiraamu basabiddwa okkulembeza eddembe mu nkulaakulana
E KALUNGU ku muzigiti gwa Mariam mu Lukaya Town Council okusaala kukulembeddwa Imaam waagwo Sheikh Muniru Ssebagala asabye abakkiriza okwongera okubeera obumu nti basobole okulwanyisa ebibawulayawulamu.
Abasiraamu nga basaala Eid
By John Bosco Sseruwu
Journalists @New Vision
E KALUNGU ku muzigiti gwa Mariam mu Lukaya Town Council okusaala kukulembeddwa Imaam waagwo Sheikh Muniru Ssebagala asabye abakkiriza okwongera okubeera obumu nti basobole okulwanyisa ebibawulayawulamu.
Ssentebe wa Disitulikiti eno Ahmed Nyombi Mukiibi yomu ku bakkiriza abeetabye mu kusaala kuno n'asaba abantu nti babeere begendereza ku bakulembeze abatakoledde bitundu byabwe.
Amyuka RDC mu kitundu kino Abdul Bbaale Mayanja ategeezezza nti Uganda ejjudde eddembe n'obutenkevu obutafanako n'ezimu ku nsi ezituliraanye,n'asaba abantu okweyambisa embeera eno nti bakole begye mu bwavu nti naddala nga beyambisa entekateeka Gavumenti ze yatekawo