Abadde atembeya empirinvuma afunye 17 n'asinga mu Lukaya town Council
ASUMAT Nakaliiri owa Kings High School yafunye obubonero 17 n'asinga banne mu Lukaya Town Council e Kalungu ffiizi abadde aziggya mu kutembeya kkaawa wa mpirivuma.
ASUMAT Nakaliiri owa Kings High School yafunye obubonero 17
By John Bosco Sseruwu
Journalists @New Vision
ASUMAT Nakaliiri owa Kings High School yafunye obubonero 17 n'asinga banne mu Lukaya Town Council e Kalungu ffiizi abadde aziggya mu kutembeya kkaawa wa mpirivuma.
Empirivuma zibala ku bisansa ebisangibwa wakati mu bisaalu,kitaawe Kamada Ssentongo gy'aziggya ne bazikaza okusekulamu kkaawa Nakaliiri gw'abadde atunda mu nnaku ezitali za kusoma.
Yasangiddwa ku ssomero ng'alikulira John Sserwadda Kasozi n'abayizi bamuyozayoza n'ategeeza nti ayagala kubeera musomesa.