Davis Ssenfuka, omutuuze w'e Kyambala mu ggombolola y'e Bukulula e Kalungu, abadde atwala enva za Idd awaka tazituusizza bw'atomeddwa mmotoka ebadde eweenyuuka obuweewo n'atwalibwa mu ddwaliro ng'embeera mbi.
Owa Poliisi Ng'akutte Emmotoka Etomedde Ssenfuka
Akabenje kano kabadde Lukaya ku luguudo lw'e Masaka okumpi n'omuzikiti gwa Mariam emmotoka ekika kya Subaru namba UA 978 AA bw’etomeredde Ssenfuka abadde ku pikipiki nnamba UFD 136 J, n'atwalibwa ku Nankya Medical Centre ng'avaamu omusaayi mu mutwe n'eriiso.
Ssenfuka Ng'atwalibwa Mu Ddwaliro Oluvannyuma Lwa Kabenje.
Poliisi y'e Lukaya etuuse mu kifo n'etwala pikipiki n'emmotoka ekoze akabenje n’etegeeza nti bigenda kugiyambako okunoonyereza we kwavudde.
Pikipiki Ssenfuka Kw'abadde Atambulira.