Ng’emu kungeri ez’okunoonyamu ssente ez’okutegeka ekijagizo ky’emyaka 100 egya Klezia Lutikko ey’e Lubaga, buli Lwakusatu waliwo Abakristu ab’ebiti eby’enjawulo, ssaako n’abantu abalala ab’omw’oyo pmulungi, abalamaga e Lubaga nebakwasa Ssabasumba Paul Ssempgerere ettoffaali ery’okuddaabiriza Lutikko eno, omukolo gugyisange ng’eri mu mbeera nnungi.
Ezimu ku ssente ezireeteddwa
Ku Lwokusatu olwakaggwa (September 24), abalyoyi b’emyoyo mu masomero n’amalwaliro, n’abebibiina by’Obutume mu Klezia, beebaalamaze ku Lutikko e Lubaga okuwaayo ettoffaali lyabwe.
Kubano kw’abaddeko aba Uganda Martyrs High School Lubaga abaaleese obukadde bw’ensimbi za Uganda 5, Our Lady Queen of Africa Rubaga Girls’ SS (obukadde 30), Uganda Martyrs Catholic Chaplaincy, Kyambogo University (Obukadde 6 n’emitwlo 20), ab’omudwaliro ly’e Lubaga (obukadde 2), ab’ekibiina kya Yozefu ne Yozefiina (obukadde 2, n’emitwalo 10), ab’ekibiina ky’Obutume bwa Bajjajja n’Abakadde (akakadde 1 n’emitwalo 70), n’aba Christ Communion and Liberation (akakadde 1).
Ow’ekitiibwa Robert Ssebunnya y’awaddeyo emitwalo 50, ate ekigo kya Ponsianp Ngondwe e Kyamula nekiwaayo obukadde 2 n;ekitundu.
Ezimu ku ssente ezisondeddwa
Obukadde 52 n’emitwalo 65 bwebwasondeddwa kumukolo guno.
Viika Geneal w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Msgr. Rogers Kabuye (eyakiikiridde Ssabasumba Paulo Ssemogerere) yeebazizza abaawaddeyo ensimbi, olw’okwerekereza nebadduukirira omulimo gw’Omukama.Omumyuka wa Ssentebe w’Olukiiko oluteesiteesi, Michael Ssebbowa Mukasa y’asabye Abakristu n’abantu abalala ab’omwoyo omulungi okwongera okuwaayo ssente enteereza zonna ez’okwetegekera omukolo zisobole okutuukirizibwa.
Akulira akakiiko akanoonya ensimbi, Omukungu Fredrick Kiyimba Freeman y’ategeezezza nti bakyeetaaga enzimbi ez’akasondebwa ziweredde ddala akawumbi kamu n’ekitundu, era nga bakyetaagayo obukadde 900, bajeti y’abwe babe ngabagyituukiriza.