LOODI Mmeeya Erias Lukwago asanyudde bannannyini mayumba abaayongezebwa busuulu bw'abasisinkanye n’abategeeza nti omuntu waddembe okuteekayo okwemulugunya mu kkooti gye yassaawo n’atasasula musolo ogwo.
Yabadde asisinkanye ab’e Kamwokya ku TLC . Yabadde aggulawo kkooti gye yassaawo okuyamba abantu ku busuulu eyitibwa 'Valuation Court'.
Lukwago yabadde ne ssentebe wa kkooti Brian Kayemba n’abakulembeze abalala okuli kansala Francis Mbaziira n’abalala.
Bannanyini mayumba e Kamwokya nga balaga obutali bumativu ku busulu w'amayumba
Abatuuze baamuloopedde ebizibu omuli ennyumba ezimu ze baazikyusa amannya, ennyumba endala mu biseera by’enkuba tezibeeramu bapangisa kyokka baazigerekera ssente nnyingi, ezimu zisulamu ba ffamire nga tezipangisibwa naye baazigerekera ssente ate ezimu ziddaabirizibwa n’okuzimbibwa naye KCCA era eba eyagala zisasule omusolo gattako ensonga endala .
Wabula Lukwago yabacamudde bwe yabazibudde amaaso nti omuntu waddembe obutasasula singa awandiikira kkooti n’agitegeeza ebizibu ku nnyumba ye naddala nga tagifunamu ssente.